
Bya Shafik Miiro
Kasangati – Kyaddondo
Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi Matovu alaze obwenyamivu olw’abantu abakyakuba abaana kubanga boogedde Oluganda oba ennimi endala ennansi nategeeza nti kino kikyamu.
Kaggo bino abyogeredde ku mbuga y’Essaza Kyaddondo e Kasangati mu ggombolola Mutuba I Nangabo bw’abadde aggalawo omusomo gw’abakulembeze okuli ab’Eggombolola, Abakulira ebitongole by’Essaza wamu n’Abaseesa.
Owek. Magandaazi agamba nti ekikolwa ebikakkanya ennimi ennansi bibeera biyisa amaaso mu buwangwa.
Ono asabye Abaami ababanguddwa okutwala ebibasomeseddwa nga bya nsonga era babituuse ne mu bantu ba Kabaka be balina okutuusaako obuweereza.
Omu ku basomesa b’ olunaku, Nassimbwa Hamida akinogaanyizza nti okubulawo kw’obwegassi kimu ku kiviriddeko abazadde okwesulirayo ogwannagamba ku nkuza y’abana.
Ababanguddwa nga bakuliddwamu,
Owek. Christine Nabukenya abakulembeze bano avumiridde egimu ku mize egiyitiridde mu Buganda ensangi zino omuli okwabizaawo ennyimbe, abako okwekola ebitaggya ku buko, nga bino agamba bitattana ennono za Bugand
Bano babanguddwa ku bweggasi, okukola alipoota, okukuuma obuyonjo yonna gye babeera, okukuuma obutondebwensi nga n’ekisingira ddala obukulu okunyweza ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano.