Obwakabaka butenderezza Dr. Ken Chapman olw’ okujjanjaba abantu n’ okutumbula Oluganda

Amawulire Apr 30, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Bulange – MmengoObwakabaka butenderezza emirimu egikoleddwa  Dr. Ken Chapman Kigozi abadde omusawo w’amannyo okumala emyaka 45 mu ddwaliro e Mengo wamu n’ okutumbula Oluganda n’ okulwagazisa abantu abalala.

Obubaka buno, Katikkiro Charles Peter Mayiga y abuwadde bw’abadde asisinkanye Dr. Chapman n’abakulu okuva mu ddwaliro abakedde Embuga ku Lwokusatu.

Katikkiro Mayiga amwebazizza olw’okutuusa obujjanjabi ate n’okutendeka abantu mu nsonga z’amannyo. Ono era amwebazizza olw’okwagala Obuwangwa bwa Buganda n’atuuka n’okuyiga olulimi oluganda n’afuna n’erinnya Kigozi era ne yenyumiriza mu Kika ky’Effumbe.

Owek. Mayiga era  yeebazizza ab’eddwaliro lya Mengo olw’okusalawo okuzimba eddwaaliro ly’amannyo erigenda okubbulwa mu Dr. Ken Chapman ky’agambye nti kabonero akongera okulaga omulimu omukulu gw’akoze ebbanga ly’amaze mu Uganda.

Ye Dr. Chapman yeyanzizza Kabaka ne Gavumenti olw’omukisa ogwamuweebwa okuweereza abantu ba Buganda, era agamba nti newankubadde addayo mu America, naye Buganda ne Uganda bijja kumusigala ku mwoyo.

LANGUAGE