Bannakyaddondwa  balabuddwa ku Mukenenya azzeemu okwegiriisa  mu bavubuka 

Eby'Obulamu Apr 24, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa 

Kampala – Kyaddondo 

Bannakampala balabuddwa ku kawuka ka Mukenenya akazzeemu okweriisa enkulu mu bavubuka naddala ab’ obuwala.

Okulabula kuno kukoleddwa Omumyuka wa Kaggo ow’okubiri Dr. Fiona Kalinda Nakalinda, bw’abadde mu lukiiko olutegeka olusiisira lw’eby’obulamu olugenda okubeera mu Ssaza Kyaddondo ku kisaawe ky’e Wankulukuku nga 6 ne 7 omwezi gw’okutaano 2025.

Dr. Kalinda era ajjukizza abantu ku ndwadde ezitasiigibwa nazo ezitandise okwegiriisa mu bantu ezivudde ku ndya embi, obulamu obw’okwejalabya n’embeera mwe bawangaalira.

Kaweefube wa Tubeere Balamu wa kutalaaga Amasaza gonna ng’abantu ba Kabaka bakeberebwa n’okujjanjabwa endwadde omuli ez’amaaso, amannyo, kookolo, endwadde z’Abakyala, Sukaali, entunnunsi, omutima n’endala.

Ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation, Omukungu Edward Kaggwa Ndagala, agambye nti baakussaawo Medical Insurance etandikibwako era esoboka okuyamba abantu ba Kabaka okufuna obujjanjabi obwannamaddala obusukka ku nsiisira z’eby’obulamu.

 Asabye abantu b’e Kyaddondo okujja mu bungi bafune obujjanjabi ku bwereere.

LANGUAGE