Basiimye Ssaabasajja Kabaka olw’okulaakulanya abantu be nga ayita mu Mmwanyi Terimba

Agafa e Mengo Jan 20, 2025
Share This

Bya  Pauline Nanyonjo

Kampala – Kyaddondo

Minisitule y’ Ekikula ky’ Abantu, Abakozi n’Enkulaakulana etenderezza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwa kaweefube wa Mmwaanyi Terimba ayambye okugoba obwavu n’okulaakulanya embeera z’abantu be mu Buganda ne Uganda.

Obubaka obusiima Empologoma buweereddwa Minisita w’Ekikula ky’ Abantu, Hon. Betty Amongi bw’abadde aggalawo olukung’aana lw’abakulembeze b’Ennono n’Obuwangwa olwa 2025.

Minisita Amongi  agambye nti okusiima kuno bakukoze akabonero akalaga nti omulimu gwe ogw’okukunga abantu okulima emmwaanyi gubadde mpagi luwaga mu kuyitimusa embeera z’abantu naddala mubyenfuna nebasobola okulwanyisa obwavu.

Ono era yeebazizza abakulembeze b’ennono n’obuwangwa olw’emitima emikozi gyebalaze mu myaka egiyise egiyambye okukubiriza bantu babwe n’eggwanga nerisobola okwesitula mu byenfuna.

Minisita Amongi abasabye okusitukiramu bayambeko Gavumenti okulwanyisa okufumbiza abaana abakyali abato, okukuuma abantu nga balamu nga babakuutira okutambulira ku biragiro bya Minisitule y’Ebyobulamu.

Anokoddeyo ebizibu omuli okutulugunya abaana, obutabanguko mu maka, ebikolwa ebityobola eddembe ly’abantu n’ebirala naakakasa nti bino singa bikolebwako amaka mangi gajja kubeeramu emirembe.

Minisita Amongi yeebaziza enteekateeka  ezitandikibwayo obukulembeze bw’ennono nga  Mmwanyi Terimba mu Buganda, Okutumbula eby’obulambuzi mu Busoga wamu n’enkola endala nategeeza nti singa enkola zino zigenda mu maaso abantu bajja kukulaakulana mu mbeera yonna.

Abasabye okuwa bannabyabufuzi okuwabula naddala mukaseera kano akalimu akayisanyo k’ebyobufuzi  baleme  okukuma omuliro mu bantu ate era bawereze banayuganda kuba Uganda ya bantu bonna.

Ye Minisita omubeezi ow’Ekikula ky’ Abantu n’Ebyobuwangwa, Hon. Peace Mutuuzo yeebaziza abakulembeze be by’obuwangwa n’ennono olw’ okukkiriza abakyala okubeera ekitundu ku bukulembeze bwabwe ekiyambye okuyimusa embeera zaabwe.

Kinajjukirwa nti abakulembeze b’Ennono n’Obuwangwa okwetoolola eggwanga bafuna omukisa nebabangulwa woofiisi ya Ssaabaminisita  n’ebitongole ebyenjawulo ku ngeri gyebasobola okutambuzaamu emirimu gyabwe nga tebakontanye namateeka.

LANGUAGE