
Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo – Kyaddondo
Soliz Marketing and Advertising Company Limited wamu n’abakwatibwako batongozza enteekateeka ya ‘Uganda Tourisim Forum’okwongera okutumbula eby’obulambuzi n’okubimanyisa ensi n’okubyagazisa abavubuka.
Kulwa kampuni ya Soliz Marketing and Advertising Ltd., Omw. Charles Kasumba nga ategeezezza nti balina ekirubirirwa okutumbula eby’obulambuzi bye ggwanga mu nsi yonna naasaba buli Munnayuganda okukimanya nti ensonga eno emukwatako nga bwekityo asaanye okugyenyigiramu.
Kasumba asabye Gavumenti eyawakati etekewo embeera ebasobozesa okutambuza obulungi emirimu gyabwe nga banyweza eby’okwerinda, okwagazisa bannayuganda eby’obulambuzi,eby’obuwangwa bitumbulwe.
Eyakiikiridde Buganda Heritage and Tourism Board(BHTB) Lule Geofrey Ssemwanga agamba nti okutumbula eby’obulambuzi mu Bwakabaka kulina kutandika nabantu kunyuma nakutegeera emboozi ez’edda olwo nebasabola okuzaagazisa emijiji emito kubanga ezisinga ku zino zirina akakwate ku bifo by’obulambuzi.
Lule agattako nti Obwakabaka bukolebwa bantu era bwebutambulira ku mulamwa gw’obumu kibeera kyangu okugatta ettofaali ku nkulaakulana y’Ebyobulambuzi.
Kitegeerekese nti enteekateeka eno yakuyambako okwang’anga ebisomooza eby’obulambuzi nga banoonya akatale mu mawanga ag’omuliraano nga Rwanda, Kenya ne Tanzania, okumanyisa ensi ku bifo ebyenjawulo n’okuteekateeka ebifo bye by’obulambuzi bituukane n’omutindo.
Omukolo guno gwetabidwako abakungu abenjawulo mu ggwanga okusingira ddala abo abali mu kisaawe ky’ eby’obulambuzi okuli bakamisoona be by’obulambuzi, abakungu b’Obwakabaka, abalambuzi n’abantu abalala.