Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo Bulange
Ensonga enkulu 10 ze zisoosowaziddwa mu mbalirira ya Buganda ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 eri ku mulamwa; “okusembeza omuvubuka mu kuteekateeka n’okussa mu nkola pulogulaamu z’Obwakabaka okuziganyulirwamu awamu”.

Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde asoma embalirira eno, ategezeeza nti ennyingo zonna ekkumi (10) eziteereddwa mu mbalirira eno, abavubuka ye nnamuziga egenda okwetoolorako buli kimu.
“Uganda n’okusingira ddala Buganda y’emu ku nsi ezisingira okubeeramu omuwendo gw’abavubuka omunene, Bannayuganda abasoba mu 78% bali wansi wa myaka 35, kyokka ebbula ly’emirimu eringi mu bavubuka n’obumenyi bw’amateeka byeyongera buli lukya ate nga businga kukosa bavubuka” Owek. Nsibirwa.
Omuwanika wa Buganda wano ategeezeza nti abavubuka bwebaba bateekeddwateekeddwa bulungi basobolera ddala okubaako emirimu gye bakola egiganyula Obwakabaka n’okutumbula obuwangwa n’ennono za Buganda.
Ennyingo enkulu ekkumi ez’enkizo ze mu mbalirira ya Buganda 2025/2026 ze zino;
1. Abavubuka be basaale mu kuzimba n’okuteekateeka Buganda ey’enkya; Abavubuka naddala abatalina batunuuliddwa okuyambibwako mu mirimu nga batendekebwa ku nkozesa y’ebyuma bikalimagezi, okukwanaganya abavubuka mu kukunganya ‘plastic’ mu nkola ya “Kachupa nazo Sente” wamu n’okutendeka abavubuka okola emirimu egyenjawulo n’okufuna obukugu mu mirimu egy’enjawulo. Bano bakuweebwa obuwumbi obuli eyo mu mukaaga.
2. Enkuza n’endabirira y’abaana abato abatandikirwako mu by’ensomesa; Obwakabaka buteekateeka okwongera ku bifo ebisomesa abaana okuva kw’ebyo 11 ebyasooka, okwengerako ebirala 20 nga bino byakuteekebwa mu masaza n’eggombolola ez’enjawulo.

3. Okunyweza Sacco n’ebibiina by’obweggasi mu Bwakabaka; Obwakabaka bwa kukola enteekateeka okuyingiza abavubuka mu Sacco z’Obwakabaka eziriwo wamu n’okubunyisa CBS Pewosa mu Masaza okuli Kyaggwe, Mawokota ne Bulemeezi mu mwaka gwebyensimbi guno.
4. Okutumbula ebyobulamu n’okutondawo enteekateeka za yinsuwa ezenjawulo; Amalwaliro g’Obwakabaka gaakwongerwamu ebikozesebwa ebyenjawulo, waliwo n’eddwaliro ly’okumazzi ery’Obwakabaka erigenda okuteekebwa ku nnyanja Nalubaale okwanguyiza abantu ba Kabaka mu byobulamu abo abali ku bizinga. Bino kwe kugenda okugattibwa n’okutumbula yinsuwa z’ebyobulamu mu nkola ya munno mu kabi wamu n’okuggulawo yinsuwa y’abakadde ne Stanbic Bank.
5. Ebyobulimi n’amakolero wansi wa pulogulamu ya Mmwanyi Terimba; okubangula abavubuka ku ndabirira y’emmwanyi, okuzimba ekifo ky’Obwakabaka ekisunsula emmwanyi, okuzimba zi Ssemaduuka ezitunda eby’obulimi mu masaza ataano (5).
6. Ebyenjigiriza n’Amatendekero aga waggulu; ettendekero lya Muteesa I Royal University lyakutongoza amasomo g’ebyobulimi ku ddala lya Satifikeeti, diploma ne digiri kino omuwanika kyanyonyodde nti kyakwongera ku muwendo gw’abayizi, waliwo n’enteekateeka y’okuzimba ebisulo bya bayizi ku masomero ga Lubiri High.
7. Obuwangwa, ennonno n’Obulambuzi; essira lyakusibwa ku nnyanja ya Kabaka okukuumibwa obutiribiri, okuwagira ebika wamu n’okukolagana n’Ekibiina ky’olulimi oluganda okusobola okukuuma n’okutumbula olulimi.
8. Okukuuma n’okulabirira ettaka n’obutondebwensi; Obuganda bwakusoosowaza okusimba emiti mu nteekateeka y’ekibira kya Kabaka ku yiika 330 e Kabulasoke mu Buddu, Okutongoza enkola y’efumba etatyobola butonde.
9. Okuwagira enteekateeka z’ebyamawulire n’okukunga abantu abali mu Uganda n’ebweru; amakanda gaakusinga kuteekebwa mu lupapula Gambuuze lutandike okufuluma buli wiiki okusingira ddala ku mitimbagano, luno nga lusinga kulonkoma Federo ey’ebikolwa mu Buganda, ate n’okuzza obuggya olukungaana lwa Buganda kwe Kwaffe luddemu okutojjera okugatta abantu ba Kabaka abeera bakomyewo kuno okuva e Bulaaya.
10. Okusiga ensimbi mu pulojekiti ez’omuzinzi n’Okuvujjirirwa Bannamikago; Buganda eteekateeka okwongera okuzimba amayumba ag’ebbeeyi ensaamusaamu e Ssentema ne Kigo, okutuusa empereza za Buganda Land mu nkola endigito, okuzimba ekisaawe ekikolebwamu ebyemizannyo byonna okusobola okubitumbula n’ebirala.