Buganda egumizza abalimi ku bbeeyi y’emmwanyi egudde

Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo – Kyaddondo

Abantu ba Buganda okuva mu Kyaggwe, Busiro ne Buddu bakiise Embuga mu Bulange e Mengo ne bawaayo ensimbi ezisobye mu bukadde obusobye mu 92 okuyita mu nkola ya ‘Luwalo Lwaffe’ ziyambeko mu kutambuza emirimu gy’Embuga.

Ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga , Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga yatikudde bano oluwalo era obubaka bwe essira alitadde ku bbeeyi ya kirime ky’emmwanyi egudde ensangi zino. Asabye abalimi ne bonna abakola emirimu egy’ekuusa ku kirime kino obutaterebuka ng’annyonnyola nti ebirime bingi ebitakola bulungi ku katale mu kiseera kino kyokka embeera eno ya kiseera buseera ate era telemesa muntu kubulwako ky’ayingiza mu nsawo.

“Buli kintu ekirimibwa n’ekitundibwa kirina akaseera ng’ebeeyi yaakyo eri waggulu, olulala ng’eri wansi, essaawa eno ebbeeyi erabika nga yaseemu naye ne bwekka era alina emmwanyi gwe bagulako atalina tanyumya” Minisita Serwanga.

Owek. Serwanga agumizza abalimi okuba okunywera lwa nsonga buli kiseera wabaawo ebisoomooza kyokka oyo alemerako y’awangula mu luvannyuma, abasabye obutava ku mulamwa. Kyokka abajjukiza ennyingo y’obuyiiya, babeeko n’emirimu emirala egiyingiza ssente, baleme kusulawo buvunanyizibwa ng’obwokulabirira amaka n’okugula ebyetaago by’abaana.

Owek. Robert Serwanga Ssaalongo – Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone

Minisita Serwanga asinzidde wano n’awabula abavubuka abakyali mu masomero okwekuumira mu buweereza bw’Embuga bajjumbire enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo era baagazise ne bannaabwe enkola y’Oluwalo nga bawaayo ekitono kye balina okugatta ettofaali ku mirimu Buganda gy’ekola.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki yebazizza abaami Abeggombolola abakozesa obulungi ettaka lya Kabaka nga basaako emirimu egivaamu ensimbi wamu n’okusembeza abantu ba Ssaabasajja Kabaka okunywerera ku nsonga ssemasonga. Abasabye obutaddiriza mu buweereza obw’ekika kino nti bwe bunaasitula Buganda okudda ku ntikko.

Eyaliko Minisita mu Gavumenti ya Museveni, Hon. Vincent Bamulangaki Ssempijja naye eyeggasse ku bakiise Embuga okuva e Buddu, ku kirime ky’emmwanyi mmwaanyi ategeezezza nti akatale kakyuka buli lukya ate n’Ensi nga Brazil ezisinga okufulumya emmwanyi zakomyewo ku katale ekitaddewo okuvuganya okw’amaanyi, kyokka kino kirina kulaga bantu obwetaavu bw’okufulumya omutindo ogw’amaanyi. Asabye n’abalimi okwekolamu omulimu okukuuma emmwanyi zaabwe ku bubbi obususse, baleme kufiirwa maanyi na ntuuyo zaabwe olwa bakyalakimpadde.

Omubaka wa Kalungu West, Francis Katabaazi Katongole asinzidde wano okusiima gavumenti ya Ssaabasajja olw’okubeera eky’okulabirako mu nkola y’emirimu, atenderezza engeri Baminisita ba Kabaka abatali bangi ate bwe bakola omulimu ogusuka mu gumu ate nga gyonna bagiggusa.

Ggombolola ezikiise Embuga leero kubaddeko Ssaabaddu Ntenjeru, Mut. I Nakisunga, Ssaabawaali Kasanje, Ssaabagabo Nsangi ne Mut. I Bukulula.

LANGUAGE