Beene agabidde Abaami be mu Ssingo obuggaali 100

Beene agabidde Abaami be mu Ssingo obuggaali 100

Beene agabidde Abaami be mu Ssingo obuggaali 100

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naagabira Abaami b’ emiruka mu ssaza Ssingo eggaali zibayambeko okubanguyiza mu by’ entambula olwo basobole okutuuka ku muntu asembayo wansi.

Omukolo guno guyindidde ku mbuga ya Mutuba III Bukomero ku Lwokusooka nga Mukwenda Deo Kagimu yakoze omukolo guno era wano kitegeerekese nti eggaali eziwera 73 ze zasooka okugabwa ku mukolo ogwayindira e Busimbi mu Ssingo.

Mukwenda  Kagimu alaze obwelalikirivu eri abantu ba Ssabasajja Kabaka abatandise okuva ku mulamawa gw’okwekulaakulanya nga bano omwenge bagukeera nga mmisa,  abasabye okukikomya mu bwavu era bafeeyo bakole okweggya mu bwavu.

Owek. Kagimu era  ategeezezza Bannabukomero nti Ssaabasajja Kabaka era yasiimye nateeka essomero lya  Nursery School mu bizimbe by’embuga ya Mutuba III Bukomero, bwatyo naasaba abantu okutwala abaana babangulwe.

Ono akuutidde Bannabukomero okukozesa obulungi ettaka ly’Obuwakabaka basobole okwekulaakulanya.

Omuwanika we Ssaza Ssingo Richard Kyambadde asabye Bannassingo obutapondooka olw’etteeka lye mmwaanyi naye bongere okuzirima era balwane okukuuma omutindo gw’ekirime kino

Abamu ku baami ba Nnyinimu  abafunye obugaali beebazizza  Beene olw’okubalowozaako era nebawera nti sibaku ssa mukono okutuuka nga embeera y’abantu b’Omutanda ekyuseemu.

Katikkiro Mayiga asabye aba BLB okukwata obulungi abantu  era bakolere mu bwerufu

Katikkiro Mayiga asabye aba BLB okukwata obulungi abantu  era bakolere mu bwerufu

Katikkiro Mayiga asabye aba BLB okukwata obulungi abantu  era bakolere mu bwerufu

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abakozi mukitongole ki Buganda Land Board (BLB) okukwata obulungi abantu abajja gyebali nga baagala obuweereza obwenjawulo era bafube okukolera emirimu mu bwerufu.

Obubaka buno, Owek. Mayiga  abuweeredde ku Masengere e Mmengo bw’abadde mu nteekateeka y’okulambula  ekitebe ky’ ekitongole ki BLB ku Lwokusatu.

Mukuumaddamula asoose  kusisinkana bboodi n’abakulira entambuza y’emirimu mu kitongole kino nga bakuliddwamu Ssenkulu Simon Kabogoza, oluvannyuma n’asisinkana abakozi bonna era n’ayogerako gyebali.

 Mukwogera, Katikkiro Mayiga  abasabye bakolere mu kwagala  era bawe obuweereza obulungi eri abantu basobole okwongera okufuna obwesige.

Owek. Mayiga era akuutidde  abakozi abali mu matabi ag’enjawulo bakwate bulungi abantu, ba baanukule nga waliwo ensonga gyebaagala okumanya, bakomye okwemulugunya kubanga eyo y’ensonga eyateesaawo amatabi mu bitundu ga gonjoole ensonga eziteetaagisa bantu kujja ku Masengere.

Abakozi abasabye  bamanyigane n’abakozi b’e bitongole by’Obwakabaka abalala, era bakuume ekitiibwa ky’obwakabaka baleme kweyisa nga ba ddikuula, bakolere wamu kuba buli omu wa mugaso eri munne.

Bbo abantu Kamalabyonna abakubirizza okujjumbira enteekateeka y’okwewandiisa ku ttaka bawone okugobwa entakera. Bagende bafune liizi, ab’obusuulu basasule era basseewo enkolagana ne nannyini ttaka.

Ono era  ayozaayozezza ekitongole kino okuweza emyaka 30 bukya kitandikibwawo n’asaba abakozi okukola n’obuyiiya, obunyiikivu, obwerufu, nokwagala okukitwala mu maaso.

Katikkiro Mayiga  bano era abalaze  obukulu bw’ettaka eri Buganda kubanga lya nkizo mu nnono za Buganda kubanga obutaka bw’Ebika buli ku butaka ekika gyekisinziira okumaakuma bazzukulu baakyo, n’olwekyo omulimu aba Buganda Land Board gwebaliko mukulu nnyo.

Ye Minisita w’Ettaka n’Ebizimbe,  Owek. Daudi Mpanga asabye abakozi okunyiriza ekifaananyi n’endabika y’ekitongole ne wankubadde waliyo ebisomooza naye kibeere gyebali okutwala obuvunaanyizibwa okwanganga omuntu yenna akola ebintu ebyonoona erinnya ly’ ekitongole.

Mu kulambula kuno  Minisita w’Olukiiko Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro,   Owek. Noah Kiyimba, Owek. Ritah Namyalo mmemba wa bboodi awamu n’abakungu abalala.

Katikkiro Mayiga asabye abasomesa okubangula abaana mu mpisa n’ennono

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abasomesa okubeerawo kulw’ abayizi bafuuke abazadde era bababangule mu mpisa n’ennono kibayambe okufuna ebiseera eby’omu maaso ebitangaavu.

Okwogera bino  Katikkiro abadde atikkula oluwalo okuva mu bayizi b’amasomero ga Janan mu matabi g’e Kabalagala ne Bombo Kalule mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

Owek. Mayiga  abasomesa abakubiriza okuyigiriza  abaana okutoola oluwalo bayige nti mu Buganda walina okubaako ekiweebwayo eri Beene emirimu gitambule nga bwekiri eri amasinzizo ng’abantu bawaayo ebirabo.

Ono era ategeezezza nti ssi kirungi kusomesa baana nebakuguka mu bya sayansi oba eby’embeera y’ensi naye nga tebalina kyebamanyi ku ggwanga lyabwe. Olwokuba enkola eno ebaddewo mu Africa, y’ensonga lwaki ku ssemazinga ono tulina abakenkufu bangi naye tebalina mirandira minywevu kuba tebabasigamu nsigo ekuuma ebyabwe era tebagasizza nsi zaabwe.

Mukuumaddamula wano wasabidde abayizi basseeyo omwoyo ku masomo gaabwe kyokka bafube okuyiga ensonga z’Obuwangwa n’ennono, bamanye ebifa ku Bika  byabwe, yadde n’ebyekizungu ssi kibi okubiyiga olwo batangaaze ebiseera byabwe eby’omu maaso.

Yeebazizza nnyo omutindo gw’amasomero ga Janan olw’okutambulira mu nkola ya mwoyo gwa ggwanga nebafaayo ku ky’obugagga eky’ensibo.

Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu n’Ensonga za Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Chotilda Nakate Kikomeko, nga yakiikiridde    Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, yeebazizza omulimu omunene ogukolebwa abatandisi b’amasomero nga bagoberera ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka eky’okusomesa abaana b’eggwanga.

Owek. Nakate akubirizza abaana okwetaba mu bibiina ebiri mu masomero gaabwe okuli; Nkobazambogo,  Bulungibwansi, “scout”, eby’olulimi oluganda n’ebirala bibayambe okunyweza obumu.

Omutandisi w’amasomero ga Janan Omuk. Micheal Kironde, ayise mu Katikkiro n’amusaba akubirize abazadde okufaayo ennyo okuweerera abaana nti lye kkubo lyokka erijja okubbulula eggwanga Buganda olw’okusereba kw’abaganda abakugu mu busawo, obusomesa, n’okubala ebitabo.

Aba Janan Schools enkola y’okukiika embuga mu luwalo, bagikola buli mwaka okwagazisa abaana abato eby’obuwangwa bwabwe

Owek. Nsibirwa akubirizza abakulembeze okulambika abantu ku nteekateeka za Gavumenti Eyawakati

Owek. Nsibirwa akubirizza abakulembeze okulambika abantu ku nteekateeka za Gavumenti Eyawakati

Owek. Nsibirwa akubirizza abakulembeze okulambika abantu ku nteekateeka za Gavumenti Eyawakati

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akuutidde  abakulembeze mu Gavumenti Eyawakati okufaayo okulambika obulungi abantu ku nteekateeka ezireetebwa okubakulaakulanya bave mu bwavu.

Obubaka buno, Owek. Nsibirwa abuwadde aggulawo olukiiko lw’ lw’okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira ya Disitulikiti y’e Wakiso ku  ku kitebe ku Lwokusatu.

Owek. Nsibirwa agamba nti mu nkola nga Parish Development Model, Emyooga n’endala ensimbi zisaana kuyisibwa mu bibiina by’obweggasi ebiwandiise era ebimanyiddwa obulungi sso ssi kufuna bantu beewandiisa mu nkola ya kiyita mu luggya olufuna ssente ebibiina nebisasika ekigendererwa ekinene nekifa.

Owek. Nsibirwa yeebazizza enkolagana eriwo wakati w’obukulembeze ku Disitulikiti n’Obwakabaka era asuubiza nti Obwakabaka bwakuwagira enteekateeka za Disitulikiti mu byobulambuzi, ebyettaka, ebyenjigiriza, ebyobutondebwensi kasita biba bya kutumbula mbeera za bulamu bw’abantu.

Ye Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso, Hon. Matia Lwanga Bwanika yeebazizza Obwakabaka olw’okubeera eky’okulabirako mu nsonga z’okusitula embeera z’obulamu bw’abantu ng’agamba nti bwe bwatunuulira Embalirira y’Obwakabaka  nga mulimu ennyingo nnyingi ezisobola okubayamba ng’abakulembeze ba Disitulikiti okulabirako okuteekerateekera be bakulembera.

Bwanika agamba nti mu bukulembeze bwa Gavumenti ez’Ebitundu mu Gavumenti eya wakati wabeerawo okupapirira mu kusaba Embalirira, kyokka emirundi mingi n’ebiteekeddwamu ne bitakolebwako.

Ono  akubirizza abakulembeze ku lukiiko lwe okufaayo okuteeka mu mbalirira ebyo ebikulu era bye balaba nti bijja kutuukirizibwa ate nga biyamba abo abakulemberwa.

Mu lukiiko luno wabaddewo okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo, era Abakungu okuva mu Bwakabaka okubadde ow’ekitongole ky’eyettaka Omuk. Simon Kabogozza ne Mw. Yahaya Mutumba ow’ekitongole ky’ebyobulimi ki BUCADEF  bawadde emisomo eri abakulembeze abeetabye mu lukiiko luno.

Enteekateeka z’ okujaguza Olunaku lw’ Abavubuka mu Buganda zitongozeddwa

Enteekateeka z’ okujaguza Olunaku lw’ Abavubuka mu Buganda zitongozeddwa

Enteekateeka z’ okujaguza Olunaku lw’ Abavubuka mu Buganda zitongozeddwa

Minisita w’Abavubuka mu Buganda Owek. Robert Serwanga Ssaalongo atongozza enteekateeka y’okujaguza olunaku lw’Abavubuka olugenda okukuzibwa nga 16 Museenene omwaka guno.

Enteekateeka eno, Minisita Sserwanga azitongolezza mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

Owek Sserwanga alambuludde ebijaguzo eby’enjawulo ebigenda okuteekebwako essira mu kujaguza olunaku luno omuli; Omwoleso gw’Emirimu gy’Abavubuka, Empaka z’Eggaali z”Amasaza, Ekigwo, Omupiira wakati w’Ebibiina by’Abavubuka eby’enjawulo, okuvuganya mu nnyimba n’amazina n’enteekateeka endala. Bino byonna byesigamiziddwa ku mulamwa “Obukugu, Obuyiiya n’Ebitone ku lw’Enkulaakulana y’Abavubuka”

Owek. Serwanga agamba nti Obwakabaka bwagala abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo okwongerako obukugu n’obuyiiya kibayambeko okugiganyulwamu obulungi bafunemu ssente beekulaakulanye, era akunze abavubuka bonna okujjumbira ebijaguzo eby’enjawulo ebiteereddwawo mu kukuza olunaku lwabwe.

Ye Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda Omuk. Baker Ssejjengo asabye abavubuka mu Buganda okweyambisa omukisa gw’ebikujjuko ebitereddwawo olw’olunaku luno okwolesa ebyo bye bakola n’okutumbula ebitone byabwe, era abakunze bonna okuva mu masaza gaabwe okwetaba ne ku ntikko y’ebijjaguzo ejja okubeera mu lubiri e Mengo.

Ssentebe w’olukiiko olukumbeddemu z’olunaku luno Omw. Najib Nsubuga agamva nti kyenkana buli kimu kiwedde okuteekateeka era akunze n’abo abatalina bya bukugu bye bakola okujja bayigire ku bannaabwe ku lunaku olwo, asuubiza nti olunaku lugenda kuba lwa njawulo ddala.

Watondeddwawo obukiiko obwenjawulo okuyambako olukiiko olw’awamu mu kuggusa enteekateeka zonna n’okulaba nga buli kikolebwa kubeera kya mutindo. Olunaku lw’Abavubuka mu Buganda lukuzibwa buli mwaka, ku mulundi guno Katikkiro Charles Peter Mayiga yasuubirwa okubeera omugenyi omukulu.

Kamalabyonna Mayiga ayolekedde South Africa  okwongera okugatta abaayo ku Bwakabaka

Kamalabyonna Mayiga ayolekedde South Africa  okwongera okugatta abaayo ku Bwakabaka

Kamalabyonna Mayiga ayolekedde South Africa  okwongera okugatta abaayo ku Bwakabaka

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asitudde olwa leero naayolekera eggwanga lya  South Africa  okutongozza ttabamiruka agatta abantu ba Buganda ababeera mu mawanga ag’omu maserengeta ga Ssemazinga Africa bakolere wamu era beezimbe.

Owek. Mayiga agamba nti Ttabamiruka ow’engeri eno agendererwamu okunyweza obumu mu bantu abawangaalira ebweru wa Buganda, okubamanyisa ebifa eka baleme kwerabira buvo bwabwe ate n’okubakubiriza okukolera awamu okwezimba.

Mukuumaddamula agambye nti guno mukisa munene eri abawangaalira mukitundu kino okumanya ebifa e Buganda baleme kuwubisibwa era kiyambe n’okubanyweza mu nnono n’obuwangwa, ensibuko n’emirandira wadde bali ku mawanga .

Ono agattako nti Ttabamiruka ono agenda kugatta abantu okuva mu mawanga nga; South Africa, Zambia, Namibia, Mozambique, Botswana, Eswatini n’amalala era wakumala ennaku 2 bonna basobole okutambulira awamu ku nsonga za Buganda.

Enteekateeka eno etegekeddwa wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Obumalirivu bw’abantu ba Kabaka ababeera e Bunaayira okulwanirira Nnamulondo n’okwezimba bya nkizo mu kunyweza Obwakabaka.”

Okusinziira ku Kamalabyonna, Ttabamiruka w’ekika kino yatandika emyaka 9 emabega nga atandikira mu Amerika, Canada, Bulaaya  n’ewalala era avuddemu ebibala ebitali bimu.

Ttabamiruka wa Buganda e South Africa: Katikkiro atuuzizaa Abaami ba Kabaka nabakuutira obumu

Ttabamiruka wa Buganda e South Africa: Katikkiro atuuzizaa Abaami ba Kabaka nabakuutira obumu

Ttabamiruka wa Buganda e South Africa: Katikkiro atuuzizaa Abaami ba Kabaka nabakuutira obumu

0

Bya Musasi Waffe

South Africa

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga atongozza Ttabamiruka w’amaserengeta ga Africa era n’atuuza n’Abaami ba Kabaka mu kitundu kino nga ayambibwako Minisita Joseph Kawuki owa Gavumenti ez’Ebitundu n’okulambula kwa Kabaka.

Abaami abatuuziddwa kuliko; atwala e Ssaza lya Western Cape Denis Lugoloobi ne Dr. Sam Ssemugabi Bakyayita owa Johannesburg, ng’ omukolo guyindidde ku Lagoon Beach Hotel mu Western Cape ku Lwomukaaga.

Owek. Mayiga, Abaami bano abakuutidde okugatta abantu ba Nnyinimu era bafube okubawa amawulire amatuufu agafa embuga baleme kuwudiisibwa.

Wasooseewo okubangula abakulembeze ku nteekateeka ezenjawulo omuli; Entambuza y’ Amawulire g’ Embuga amatuufu, Okwezimba mu byenfuna okw’ abantu abawangaalira ku mawanga n’ okulambulula ku Buganda weetuuse mu byenfuna.

Kinajjukirwa nti Ttabamiruka ono ayindidde wansi w’ omulamwa ogugamba nti, ” Obumalirivu bw’abantu ba Kabaka ababeera e bunaayira okulwanirira Nnamulondo, Okwezimba, bya nkizo mu kunyweza Obwakabaka. “

Obwakabaka bukungubagidde Omugenzi Bbaale Maurisio

Obwakabaka bukungubagidde Omugenzi Bbaale Maurisio

Obwakabaka bukungubagidde Omugenzi Bbaale Maurisio

Bya Musasi Waffe

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde omugenzi Omugenzi Bbaale Maurisio nebutendereza emirimu gyakoledde Obuganda n’ eggwanga.
Obubaka buno, Minisita wa Gavumenti z’ Ebitundu Joseph Kawuki abutisse, Owek. Gertrude Nakalanzi Sebugwawo, amukiikiridde ku mukolo gw’ okuziika Bbaale e Kibanda mu Kooki ku Lwomukaaga.

Minisita Joseph Kawuki atenderezza Omugenzi Bbaale Maurisio olw’okukola n’okwagala, obunyikivu wamu n’okwewayo ekyamuleetera okulengerwa Omutanda n’amuwa obwami bw’Omumyuka wa Ggombolola Musaale Kibanda mu Ssaza Kooki.

Owek. Kawuki asaasidde nnyo Namwandu, bamulekwa wamu n’Omukwanaganya w’emirimu gya Ssaabasajja Kabaka mu Kooki olw’okuviibwako omuntu abadde empagi luwaga mu maka ate ne mu buweereza.

Ye Oweek. Gertrude Nakalanzi Sebugwawo -Omukwanaganya w’emirimu gya Ssaabasajja Kabaka mu Kooki, yeebazizza nnyo Omugenzi Bbaale olw’obumalirivu n’okwagala by’ayolesezza mu kiseera ky’abadde omuweereza wa Beene n’asaba abasigadde naddala abaana be okumulabirako wamu n’okukuuma omukululo gw’alese.

Oweek. Sebugwawo era asabye abantu b’eKooki okusigala nga bawulize eri Beene, okwongera okulima emmwanyi wamu n’okuboola abo bonna abayisa olugaayu mu Nnamulondo ne mu Bwakabaka. Abakalaatidde okusigala nga bajjukira nti Kooki Ssaza lya Buganda era Kabaka wa Buganda y’alitwala.

Omugenzi aziikiddwa ku kyalo Bbaale Kasisa mu Ggombolola Musaale Kibanda mu Ssaza Kooki, nga okuziika kino kwetabiddwako enkumi n’enkumi z’abantu omuli bannabyabufuzi okuva mu bibiina eby’enjawulo, abakungu okuva mu Gavumenti eya wakati wamu ne mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka.

Katikkiro Mayiga asabye abawangaalira ku mawanga obuteekubagiza

Katikkiro Mayiga asabye abawangaalira ku mawanga obuteekubagiza

Katikkiro Mayiga asabye abawangaalira ku mawanga obuteekubagiza

Bya Gerald Mulindwa
Eswatini

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abaganda abawangaalira mu maserengeta ga Africa beewale okwekubagiza olwo lwe banaasobola okutambuza enteekateeka n’emirimu gy’Obwakabaka nga basinziira mu bitundu byabwe.

Okwogera bino Katikkiro abadde ayogerako n’abantu ba Kabaka ababeera mu ggwanga lya Eswatini mu kaweefube wokutambuza omulamwa gwa ttabamiruka w’amaserengeta ga Africa n’ekigendererwa eky’okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka.

Mukuumaddamula abasabye obutaggwamu ssuubi balemereko basobole okutuuka ku buwanguzi.

Wabula abalabudde obutatwalirizibwa nabyogerwa ku mitimbagano nti bibaggya ku mulamwa naye bagoberere emikutu gy’Obwakabaka bafune amawulire amatuufu.

Owek. Mayiga era abakubirizza okunyweza ennono zaabwe ate bawe ekitiibwa obuwangwa bwa bannansi.

Mu lukungaana lwe lumu, Katikkiro atongozza olukiiko olufuzi olw’ekibiina kya bazzukulu ba Nambi olukulemberwa Owek. Paul Mulindwa.

Bano abasibiridde entanda era bulijjo bafube okukulembera n’ebikolwa, bakumeekume bannabwe era baagazise abaana abato ensonga z’obwakabaka.

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be okwongera okulima emmwaanyi

Bya Ssemakula John

Lubaga – Kyaddondo

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be okugenda mu maaso n’okulima emmwanyi era basigale nga bagitwala  ng’ ensonga enkulu wadde ng’ekitongole ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) kyagyiddwawo.

Omutanda ategeezezza  nti wadde ebiyiting’ana bingi naye emmwaanyi esigala yankizo ku nkulaakulana ya buli muntu n’Obwakabaka okutwaliza awamu era naakugobera ddala obwavu.

Obubaka buno Nnyinimu abutisse Omulangira David Kintu Wasajja bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’okukuza Amazaalibwa ga Katikkiro eyawummula Eng. John Baptist Walusimbi ag’emyaka 80 akategekeddwa aba ‘Pope Paul the 5th Social club’ ku Pope Paul mu Ndeeba.

Beene era alagidde abantu be okunyweza Obumu,okukomya okwekubagiza,okwongera okukola enyo okweggya mu bwavu okusobola okunyweza obwakabaka.

Kabaka asiimye nnyo obuweereza bwa Katikkiro eyawummula Eng. JB Walusimbi eri obwakabaka bweyali Katikkiro nebwaweerezza wadde nga awummudde obwa Katikkiro.

Ku lulwe Omulangira David Wasajja atenderezza omukwano n’enkolagana Owek JB Walusimbi gyalina nabo naddala bweyali akyali mu buweereza nemu biseera nga awummudde obuweereza.

Omukolo gwetabiddwako abantu ab’enjawulo omuli bakatikiro abawummula okubadde Owek. Joseph Mulwanyamuli ssemwogerere, Owek. Dan Mukika, saako Ssaabaganzi Emmanule Ssekitoleko, eyali Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Ow’ek.Nelson Kawalya, eyali omumyuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, ababaka ba Palamenti n’abantu abalala.

 Ssentebe wa ‘Pope Paul 5th social club’ abakulembeddemu enteekateeka y’akabaga kano,  Patrick Nsanja nga era mubaka wa Ntenjeru South ategeezezza nti baagadde okusiima Owek. Walusimbi olw’emirimu gyasobodde okukola Obuganda ne Uganda.

Omujaguza Eng. JB walusimbi yeebazizza nnyo bonna abamulaze Omukwano n’okumutegekera akabaga k’Amazaalibwa akamuweesezza ekitiibwa.

Omukolo gwetabiddwako abantu ab’enjawulo omuli bakatikiro abawummula okubadde Owek. Joseph Mulwanyamuli ssemwogerere, Owek. Dan Muliika, Ssaabaganzi Emmanule Ssekitoleko, eyali Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Ow’ek.Nelson Kawalya, eyali omumyuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, ababaka ba Palamenti n’abantu abalala.