Ebikulu mu mbalirira ya Buganda ey’obuwumbi 305

Amawulire, Ebyenfuna Jun 16, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda buyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 ya buwumbi 305.Olukiiko lwa Buganda olukulu lutudde nga bweri enkola eya buli mwaka mu mwezi gw’omukaaga okusoma embalirira ya Buganda eya 2025/2026.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ayanjulidde Obuganda ensimbi obuwumbi 305 ng’eno yesigamiziddwa ku mulamwa; “Okusembeza omuvubuka mu kuteekateeka n’okussa mu nkola pulogulaamu z’Obwakabaka okuziganyulirwamu awamu”

Omuwanika wa Buganda, embalirira gy’asomye yesigamiziddwa ku miramwa 10 era ategeezeza nti buli gumu ku mulamwa gino, abavubuka be batunuuliddwa okusoosowazibwa mu kuteekateeka mu nkola wamu n’okuganyulwa mu nteekateeka z’Obwakabaka ezitali zimu.

Omuwanika wa Buganda nga tannasoma mbalirira ya 2025/2026 asoose kwanjula entebya ey’embalirira ya 2024/2025 eyali ey’obuwumbi 257. Wano annyonnyodde ebimu kw’ebyo ebituukiddwako Obwakabaka mu mwaka gw’ebyensimbi ogwo mu byenjigiriza, ebyobulamu, ebyobulimi, tekinologiya ebyamawulire n’ebirala.

“Mu 2024/2025 embalirira yali ya buwumbi 257, kyokka ensimbi ezikuŋŋanyiziddwa zikunnukirizza mu buwumbi 264 ekiraga okusukuluma kwa bitundu 3%, embeera eno kamu ku bubonero obulaga nti tuli bamalirivu ng’Obwakabaka okuggusa enteekateeka z’ebyenkulana ezirambikiddwa mu nnamutayiika mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko” Owek. Nsibirwa.

Embalirira y’Obwakabaka eya 2025/2026 ezimbiddwa ku nnyingo enkulu 3;

1. Omukisa gw’abavubuka okuva nga be basinga obungi mu ggwanga.

2. Emiwaatwa egiri mu nkuza, enteekateeka n’endabirira y’abaana abato abatandikirwako mu by’ensomesa.

3. Obwerufu bwa Gavumenti ya Kabaka okwongera okulinyisa obujjumbize mu bantu ba Kabaka okuleeta oluwalo n’okusikiriza Bannamikago, ensimbi ze baleeta zisobole okuvujjirira emirimu gy’Obwakabaka egy’enjawulo.

Ebyobulimi, Obweggassi, obusubuuzi n’Obuvubi bye bisinze okuteekebwamu ssente mu mbalirira esomeddwa nga obuwumbi nsanvu mu musanvu n’obukadde biba n’ezigwanu ze zibaliririddwa okubisaasanyibwako (77, 411,824,549), bino biddirirwa okwekulaakulanya n’okusiga ensimbi nga bino bibaliriddwamu obuwumbi 73 n’ezigwamu.

Obuwumbi bisatu mu butaano (305), Owek. Nsibirwa ategeezezza nti zino zigenda okufunibwa okuva mu; kuliyirirwa gavumenti okuva mu nsimbi Buganda z’egibanja, abanywanyi ne bannamukago, okukozesa tekinologiya mu kunoonya obuvujjirizi okugeza agambye balina enteekateeka ya ‘Fund me’ gye bateekateeka okutongoza okufuna abawagira emirimu gy’Obwakabaka nga bayita ku mitimbagano, ate ensimbi endala zaakuva mu bitongole bw’Obwakabaka n’enteekateeka z’Obwakabaka ezitali zimu.

Embalirira eno etunuuliziddwa abavubuka erimu ebintu ebisuubirwa okutonderawo abavubuka emirimu omuli okutendeka abavubuka 5,000 buli mwaka mu Buganda Digital Hub, enteekateeka ya ‘akacupa nazo ssente’, Airtel-Buganda Youth Network Project eno yakutendeka abavubuka mu matendekero aga waggulu okuyingiza ssente nga bakyasoma, okubangula bavubuka mu kulabirira emmwanyi, okuwa abavubuka omukisa okukola internships mu bitongole bw’Obwakabaka n’ebirala.

Embalirira eno esomeddwa entandika okukola omwezi ogujja ogwomusanvu nga lumu (1 Kasambula, 2025).

LANGUAGE