
Bya Samuel Stuart Jjingo
Nakiwogo – Busiro
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Oweek Joseph Kawuki akuutidde abaami ba Kabaka okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubakwasiddwa Ssaabasajja Kabaka.
Bino abyogeredde ku mukolo ng’atuuza omwami wa Ssaabasajja Kabaka ow’Eggombolola ya Mutuba V Nakiwogo Ssalongo Paul Sserumaga. Mu bubaka bwe, Oweek. Kawuki ategezeeza abaaami nti buli ewali okusomoozebwa banoonye engeri gye bavunuka okusomoozebwa awamu n’okutunulira emikisa emingi gyebalina okusobola okutambuza emirimu gya Nnyinimu.
Minisita Kawuki ayongedde okunnyikiza ensonga y’okufuna Federo okusobola okuteekerateekera abantu ba Buganda n’eggwanga lyonna obulungi era wano wasinzidde n’ajjukiza gavumenti ya wakati okuddamu okutunula mu biki bannansi kyebetaaga olwo obuwereza bugyanguyire.
Omwami w’essaza Busiro Ssebwana Oweek. Charles Kiberu Kisiriiza akubiriza abaami ba Kabaka abatuziddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa wamu n’okukozesa obuyiiya nga baweereza Kabaka wabwe.

Omugole Ssalongo Paul Sserumaga ategezeeza Minisita nti bagenda kukola kyonna ekisanidde okuweereza Ssabasajja Kabaka.
Omukolo guno gukoleddwa Oweek. Joseph Kawuki nga ayambibwako Ssebwana Oweek Charles Kiberu wamu n’omulezi w’essaza Busiro Oweek. Christine Nabukenya era gwetabiddwako Omutaka w’Ekika ky’Envubu Jajja Kayita, Omubaka wa Entebbe Munisipaali, abakungu okuva mu Bwakabaka ne gavumenti eya wakati.