Enteekateeka z’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka n’okusaba mu Ekelezia e Lubaga ziwedde, Abantu basabidde okukeerako

Amawulire Apr 12, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Lubaga – Kyaddondo 

Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi olw’amazaalibwa ag’emyaka 70, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abantu ba Buganda okukeerako basobole okwetaba obulungi mu mmisa y’ okwebaza Katonda olw’ ekirabo ky’ emyaka 70 kyawadde Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Owek. Nsibirwa gamba nti emmisa ejja kutandika ku Ssaawa mwenda ez’emisana (3:00PM) zennyini so nga abatasobole kujja emikolo bakka kugigoberera ku mikutu egy’ Amawulire egy’ enjawulo egijja okuweereza obutereevu.

Omuwandiisi Omukulu ow’Essaza ly’e Kampala nga livunaanyizibwa ku Lutikko ye Lubaga, Fr. Pius Male Ssentumbwe,  ategeezeza nti Ekelezia yeetegese bulungi okutambuza okusaba n’okujaguza olw’ekkula ery’emyaka 70, naakakasa nti ekitiibwa ky’omukolo kigenda kuggyibwayo bulungi nga ne Ssaabasumba Paul Ssemogerere y’agenda okukulemberamu okusaba.

Amyuka RCC wa Lubaga,  Henry Kitambula akakasizza nti ebyokwerinda byonna binywezeddwa okulaba nti abantu ba Nnyinimu bajaguza mu mirembe era mu ssanyu.

Abakristo enkya bajja kubeera n’emmisa z’okunyenya amatabi nga bwe kibeera bulijjo, olwo okusaba okw’enjawulo okw’okujaguza emyaka 70 kubeerewo ku ssaawa mwenda zennyini ez’emisana.

LANGUAGE