Gavumenti ya Uganda evuddeyo ku nsonga ze Congo, abakulembeze bakkaanyiza okumalawo olutalo

Amawulire Mar 05, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Nakasero-Kyaddondo

Minisita wa Gavumenti Eyawakati ow’ Ensonga za East Africa era Omumyuka Asooka owa Ssaabaminisita, Rt.Hon Rebeca Kadaga agamba nti abakulembeze b’amawanga gonna agegattira mu mukago gwa East Africa bakola buli kisoboka okumalawo olutalo oluli e Congo.

Bino Kadaga abitegeezezza bannamawulire mu Kampala ku Lwokubiri bw’abadde alambulula ku Uganda weyimiridde ku nsonga z’okutebenkeza ekitundu kino.

Kadaga agamba nti abakulembeze ba mawanga ga East Africa  batudde enfunda nnyingi nebakubaganya ebirowoozo ku ngeri gyebasobola okumalawo olutalo luno mu bwangu kubanga   lukoseza abantu abatalina mwasirizi naddala abakyala n’abaana.

Kinajjukirwa nti olutalo oluyindira mu DR Congo lwatandika gyebuvuddeko nga abayeekera b’ekibinja ki M23 balwana ne Gavumenti era nebagiwambako ekibuga Goma ekyaleetera abantu abamu okulugulamu obulamu ate abawerako nebatandika okubundabunda.

Minisita ategeezezza nti abakulembeze  b’ensi za East Afirika  baasaba abalimukulwanagana okukkiriza abantu ba bulijjo okufuna obuyambi okuli emmere ne ddagala era ne gavumenti ya Congo okukola ekisoboka ekuume ebitebe by’amawanga amalala ebiri mu ggwanga eryo nga bwebanoonya engeri gyebasobola okukomya olutalo luno.

Ku nsonga ya M23,  Kadaga agamba nti bano gavumenti ya Congo yategeza nti ssi banansi wabula bantu abagya obuzzi era eyagala baddeyo mu ggwanga lyabwe gyebasibuka wadde nga nabo bakyalemeddeko nga bagamba nti bannansi.

Minisita Kadaga agasseeko nti  abakulembeze b’amawanga  okuli owa Tanzania, Kenya, Uganda, Zimbabwe, Angola wamu ne Rwanda bakuddamu okutuula  okwongera okumatiza pulezidenti wa DR Congo Felix Tshisekedi okukomya olutalo.

Ku byogerwa nti Uganda yeemu ku ezikuma omuliro mu lutalo luno,  Kadaga agamba nti baagala okulaba ng’olutalo luno lukomekerezebwa era baawerezaayo amagye agabasabibwa Gavumenti ya Congo okulaba nti bayambako ku mbeera.

Bino webijidde nga kewajje wabeewo olukiiko lw’amawanga ga East Africa olwakubirizibwa pulezidenti Emmerson  Munangagwa owa Zimbabwe era akulira olukiiko olugata amawanga ag’omu maserengeta ga Afrika (SADC) olwali e Dar es Salam nga 8/02/2025  nebakkanya  okuggula amakubo n’ebisaawe by’enyonyi ebyali biggaddwa era n’enjuyi ezirwanagana zitabagane emirembe gidde mukitundu kino.

LANGUAGE