
Bya Samuel Stuart Jjingo
Lubiri – Mmengo
Olukiiksatuo olutegesi olw’ emisinde egy’ Amazaalibwa ga Kabaka egigenda okubaayo ku Ssande eno mu Lubiri e Mmengo lulabudde abantu abatafuna mijoozi okugifuna kubanga emikadde tebagenda kukkirizibwa kuyingira mu nteekateeka eno.
Okulabula kuno bakukoze basisinkanye Abakuumaddembe okulaba butya bwebagenda okukwatamu enteekateeka eno, ng’ ensisinkano eno eyindidde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu.
Ssentebe w’Olukiiko Oluteesiteesi Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Oweek. Prof. Hajj Twaha Kaawaase agamba anti emijoozi gigenda kuggwa ku katale ate teri aggya kukirizibwa kuyingira mu mijoozi mikadde naasaba abantu okugifuna mu budde.

Oweek. Kaawaase ategezeeza nti abantu bonna basaanye okumanya nti tewali akirizibwa kuggya n’ansawo okuggyako ey’emisinde era bewale nnyo okuggya n’ebipande era bafune obutayingiza byabufuzi mu nteekateeka eno kubanga Kabaka wa bantu bonna.
Akuliddemu abakuumaddembe, Afande Luke Oweyesigire agumizza abantu abagenda okudduka nti eby’okwerinda binywevu era bagenda kubakuuma okwetangira obuzibu bwonna.

Alabudde bonna abanajja mu misinde okwewala okukola efujjo kubanga Abakuumaddembe bali bulindaala okukola bonna abeetegese okukola efujjo.
Kinajjukirwa anti emisinde gino gyakubaawo ku Ssande nga 06, 04, 2025 mu Lubiri e Mmengo.