Kamalabyonna Mayiga yeebazizza Bboodi ya Laadiyo ya CBS FM

Agafa e Mengo Apr 22, 2025
Share This

Bya Musasi Waffe

Bulange – Mmengo 

Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza Bboodi ebadde ekulembera laadiyo y’obwakabaka CBS FM olw’obumalirivu n’Obuvumu bweboolesezza mu myaka omukaaga nga baweereza era n’asaba abaweereza abalala babalabireko.

Okwogera bino, Owek. Mayiga abadde ku kabaga akasiibula Bammemba ba Bboodi eno akategekeddwa mu Butikkiro ku Lwokubiri.

Katikkiro era alambuludde ku ngeri Laadiyo CBS gyeganyudde obuganda ne Uganda yonna okutwalira awamu, nga anokoddeyo okusoosowaza eby’obuwangwa n’Eennono n’ebirala ekiyambye Obuganda okugenda mu maaso.

Ye Minisita w’Amawulire, Okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke yeebazizza bammemba ba bboodi ya CBS olw’okwewaayo okutambuza emirimu  egigifudde laadiyo ekyasinze okuwulirizibwa.

Ate abadde Ssentebe wa bboodi ya CBS, Omukungu Mathias Katamba ku lwa banne, yeebazizza Katikkiro Charles Peter Mayiga olw’okubawabulanga entakera kyagambye nti kibayambye nnyo okuyimusa CBS nga kati buli wamu ewulirwa.

Omuk. Katamba era yeebazizza 

 Ssentebe wa Buganda Twezimbe Omuk. John Fred Kiyimba Freeman, olw’okubasomesa n’okubalambika mu bintu ebyenjawulo.

LANGUAGE