Katikkiro alabudde abantu ku basawo abafere

Amawulire May 06, 2025
Share This

Bya Hashim Ssembuusi

Wankulukuku – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza kaweefube wa Tubeere Balamu mu Ssaza Kyaddondo ng’asinziira e Wankulukuku mu kisaawe ewategekeddwa olusiisira lw’ebyobulamu.

“Ennaku zino waliyo abasawo bangi, obusawo bufuuse kumpi bya busuubuzi, buli omu alanga eddagala erya buli kika, simanyi oba nga obutendeke bw’abasawo bonna abo bufaanana butya, naye mugende mu basawo abatendeke okumanya embeera y’obulamu bwammwe” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro ategeezeza nti Ssabasajja yateekawo ensiisira zino abantu be bamanye obukulu bw’okusoosowaza obulamu. Ategeezezza nti ensiisira ziyambye abantu okukeberebwa endwadde ez’enjawulo n’ekibayamba n’okuzimanya amangu. Annyonyodde nti waliwo endwadde nga sukaali, entununsi, akatungulu, endwadde ez’omutima ez’ensigo, kibumba n’endala nga nzibu zaakulabirawo so ng’ate za bulabe.

Owoomumbuga agamba nti abantu bangi batya okugenda mu malwaliro nga beekwasa ensimbi, kyokka ne bazimalira mu bintu ebirala ng’omwenge, abakazi n’ebirala eby’okwejalabya ng’obubaga n’okukyakala, bano abajjukiza olugero lwa ‘Asiika obulamu, tassa mukono’. Akikaatiriza nti obulamu kya muwendo ekisasulirwa okukifuna oba okukikuuma.

Kamalabyonna agamba nti abantu bwe balwawo okwekebeza endwadde emirundi mingi bagenda okuzitegeera nga zikuze nnyo olwo ne babuna amalwaliro ne ssente ze balina ne zibaggwako. Bwatyo asabye Obuganda okweyambisa omukisa gw’ensiisira z’ebyobulamu okwekenenya embeera z’omubiri. Akikaatiriza nti endwadde si za bakadde bokka, wabula ne bavaubuka n’abaana.

Minisita w’Ebyobulamu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ng’asinziira mu lusiisira luno, yeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’okukulemberamu ensonga y’okutuusa ebyobulamu eby’omutindo ate nga bisoboka eri abantu be. Yebazizza ne bannamukago bonna abakwatizaako Obwakabaka ne Kabaka Foundation mu kutumbula ebyobulamu mu Buganda ne Uganda yonna. Ono era ajjukiza n’abantu okwewala endwadde eziva mu kukabirirwa n’endwadde z’emitwe.

Ssenkulu w’ekitongole ki Kabaka Foundation aloopedde Katikkiro nti mu masaza ge baakatuukamu mu kaweefube wa Tubeere Balamu, basanze nga abantu bangi balina endwadde kyokka tebalina busobozi kwetusaako bujjanjabi bwetaagisa ate nga n’embeera y’ebyobulamu mu bitundu bingi si nnungi. Kyokka ono awadde obweyamu nti baakugenda mu maaso n’okukola ekisoboka okulaba nti abantu ba Beene bafuna obujjanjabi obusaanidde.

Super Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Muhammad Galabuzi asinzidde wano n’asaba Gavumenti okutereeza ebyobulamu mu ggwanga naddala embeera abasawo mwe bakolera emirimu gyabwe, ng’agamba nti embeera enzibu bano mwe bakolera emirimu eviiriddeko bangi okugenda mawanga g’ebweru ate eggwanga ne lifiirwa obukugu bwabwe.

Olusiisira luno lujjumbiddwa abantu abazze okufuna empeereza z’ebyobulamu ez’enjawulo, era lwakumala ennaku 2 nnamba okusobola okuwa omukisa abantu bonna okukolwako.

LANGUAGE