
Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye ebibiina by’obwegassi okukolagana kibayambe okufuna amagezi ag’okwekulaakulanya basobole okugoba obwavu mu bantu ba Kabaka.
Okwogera bino abadde asisinkanye ebibiina by’obwegassi ebigwa mu bitongole by’obwakabaka okuli; Essuubiryo Zambogo Sacco, CBS Pewosa Kyaddondo, ne CBS Pewosa Busiro, Buladde Financial services, ebikungaanidde ku ttabi lya CBS Pewosa nsindika njake eyeeterekera ku luguudo Kabakanjagala ku Lwokusatu.
Kamalabyonna Mayiga agamba nti mu kulambula ebitongole bino, ekigendererwa kya kumanyagana wamu n’okufuna amagezi okuva ku balala ky’ongere okunnyikiza enzirukanya y’emirimu egendereddwamu okuweereza abantu n’okukyusa embeera zaabwe.
Owek. Mayiga akuutidde abakulira ebitongole bino bateme empenda ezigaziya amakubo g’ennyingiza olwo kibasobozese okukola amagoba agawerako.

Asabye abakozi mu bitongole bino okukwata omumuli gw’obwakabaka ogw’okutembeeta ekitiibwa kya Namulondo nga boolesa obwerufu n’obuyiiya mu nkwata y’abantu abatereka ensimbi mu bibiina bino.
Minisita w’Obulimi Obulunzi obuvubi n’obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo, asabye ebibiina okukolagana obulungi n’ekitongole ky’obwakabaka ekitwala ebibiina by’obwegassi ki BUCODA n’agamba nti kijja kubayambako okubasakira abawozi b’ensimbi naddala banka n’ebitongole ebirala.
Bassenkulu be bitongole, bawadde alipoota ku butya bwe baddukanya emirimu n’engeri gye bakwatamu ensimbi z’abantu.

Bano bannyonnyodde Katikkiro nti waliwo okugenda mu maaso era kino kyeyolekera ku muwendo gw’Abantu abeewola ssente okweyongera ekiyambyeko ebibiina bino okukula.