Katikkiro Asisinkanye Abaana b’Abavubuka mu America

Amawulire, Ag'Ebweru May 24, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mu America gye yagenda okusisinkana abantu ba Kabaka, Katikkiro afunyemu ekiseera okwogerako eri bamusaayi muto, abavubuka n’abaana abato abaweereddwa omusomo ku buwangwa n’ennono, ebireeta endwadde z’emitwe, n’engeri y’okutandikamu obufumbo.

Katikkiro mu kwogera kwe eri bano alaze obukulu bw’okunywerera mu buwangwa n’ennono by’agambye nti ye nsibuko y’omuntu yenna mu Nsi. Bano bwatyo abakuutidde okwogera olulimi oluganda, okuyiga okulanya, enneeyisa n’ennyambala y’Omuganda.

Kamalabyonna wa Buganda, Mayiga abasomesezza ku bintu ebiviirako endwadde z’omutwe, omuli; okukabiribwa okuva ku mirimu, okwegomba abalala abali obulungi okubasinga, obutakwatagana na mikwano gyabwe. Kino kibaviiriddeko okutandika okukozesa ebiragalalagala ne kigootaanya ebiseera by’obulamu bwabwe eby’omumaaso.

Katikkiro awadde amagezi okunogera ebizibu bino eddagala, ng’akubirizza abavubuka naddala okwekwata ku bantu ababasingako mu myaka, okubawuliriza, babafuneko amagezi g’okuvuunuka ebizibu ebiringa ebyo.

Abatuuse mu myaka egy’okufumbirwa, Katikkiro abategeezezza nti tebasaanye kulwawo wabula beetegereze bulungi abo be beegwanyiza okubafumbirwa bagende bakole obufumbo nga obudde bukyali baleme kulaganyalaganya.

Abavubuka baliko ebibuuzo bye babuuzizza Katikkiro naddala ebikwata kumanya obuvo n’obuddo bwa ensibuko yabwe, ebifa ku bwakabaka n’ebirala.

Katikkiro abadde wamu ne Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Oweek Joseph Kawuki, Oweek. Noah Kiyimba, Oweek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, omumyuka wa Ssebwana Dr. Grace Sseruyange Ssaako Abaami ba Kabaka mu Masaza ga America ne Canada, Owa Scandinavia n’omumyuka wa Bungereza Janat Nabatta Mukiibi.

LANGUAGE