Katikkiro Mayiga asabye abasomesa okubangula abaana mu mpisa n’ennono

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abasomesa okubeerawo kulw’ abayizi bafuuke abazadde era bababangule mu mpisa n’ennono kibayambe okufuna ebiseera eby’omu maaso ebitangaavu.

Okwogera bino  Katikkiro abadde atikkula oluwalo okuva mu bayizi b’amasomero ga Janan mu matabi g’e Kabalagala ne Bombo Kalule mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

Owek. Mayiga  abasomesa abakubiriza okuyigiriza  abaana okutoola oluwalo bayige nti mu Buganda walina okubaako ekiweebwayo eri Beene emirimu gitambule nga bwekiri eri amasinzizo ng’abantu bawaayo ebirabo.

Ono era ategeezezza nti ssi kirungi kusomesa baana nebakuguka mu bya sayansi oba eby’embeera y’ensi naye nga tebalina kyebamanyi ku ggwanga lyabwe. Olwokuba enkola eno ebaddewo mu Africa, y’ensonga lwaki ku ssemazinga ono tulina abakenkufu bangi naye tebalina mirandira minywevu kuba tebabasigamu nsigo ekuuma ebyabwe era tebagasizza nsi zaabwe.

Mukuumaddamula wano wasabidde abayizi basseeyo omwoyo ku masomo gaabwe kyokka bafube okuyiga ensonga z’Obuwangwa n’ennono, bamanye ebifa ku Bika  byabwe, yadde n’ebyekizungu ssi kibi okubiyiga olwo batangaaze ebiseera byabwe eby’omu maaso.

Yeebazizza nnyo omutindo gw’amasomero ga Janan olw’okutambulira mu nkola ya mwoyo gwa ggwanga nebafaayo ku ky’obugagga eky’ensibo.

Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu n’Ensonga za Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Chotilda Nakate Kikomeko, nga yakiikiridde    Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, yeebazizza omulimu omunene ogukolebwa abatandisi b’amasomero nga bagoberera ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka eky’okusomesa abaana b’eggwanga.

Owek. Nakate akubirizza abaana okwetaba mu bibiina ebiri mu masomero gaabwe okuli; Nkobazambogo,  Bulungibwansi, “scout”, eby’olulimi oluganda n’ebirala bibayambe okunyweza obumu.

Omutandisi w’amasomero ga Janan Omuk. Micheal Kironde, ayise mu Katikkiro n’amusaba akubirize abazadde okufaayo ennyo okuweerera abaana nti lye kkubo lyokka erijja okubbulula eggwanga Buganda olw’okusereba kw’abaganda abakugu mu busawo, obusomesa, n’okubala ebitabo.

Aba Janan Schools enkola y’okukiika embuga mu luwalo, bagikola buli mwaka okwagazisa abaana abato eby’obuwangwa bwabwe

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *