
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga atikudde oluwalo lwa nsimbi ezisobye mu bukadde 25 okuva mu Bannabuddu abakiise Embuga.
Katikkiro akubirizza abantu ba Kabaka okubeera abegendereza eri abaseketerera enteekateeka z’Obwakabaka eziba zigendereddwamu okukulaakulanya abantu b’Omutanda nokukyusa embeera mwe bawangalira.
“Abantu bangi abalumwa nga balaba Buganda eriko wetuuse mu byenkulakulaana, kyokka mbasaba ab’ebigambo mubaveeko mwe munyiikire kukola” Katikkiro Mayiga.

Kmalabyonna yebaziza abantu bonna abatambudde naye mu buweereza bwe obw’emayka 12 ng’akutte ddamula era agamba nti ekimu ku bintu by’asinga okwenyumirizaamu mu myaka 12 egy’Obwakatikkiro kwe kulaba ng’abantu ba Buganda baakomya okwekubagiza n’ebasitukiramu okukola basobole okweggya mu bwavu.
“Bangi bali tebaagala kukola nga balinze kuweebwa buweebwa, kyokka enteekateeka ze najja nazo nga Ssaabasajja ankwasiza ddamula ziyambye nnyo abantu okukomya okwekubagiza ne benyigira mu mirimu egy’enjawulo nga okulima emmwanyi, okulunda nga kibayambye nnyo okweggya mu bwavu n’okwongera okusitula ennyingiza mu Bwakabaka.” Katikkiro.
Katikkiro yebazizza Bannabuddu okukyusa Embuga era n’abasiima nnyo n’okuleeta abaana mu nteekateeka z’Obwakabaka n’akikaatiriza nti ennyonyi enkulu y’eyigiriza ento okubuuka era abaana kye bakula balaba ne mu bukulu kye bakola. Abasaasidde n’olwokufiirwa munnabuddu munnaabwe era musajja wa Kabaka Ssaalongo John Jones Serwanga.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki yebazizza Kamalabyonna olw’okukulembererako Kabaka, Obwakabaka obulungi emyaka 12 gyamazze n’olwebyo byakoze mu bukulembeze kyagambye nti byakulekawo omukululo ogw’amanyi mu Bwakabaka.
Omumyuka wa Pookino Owookusatu Mw. Muwanga Dick alopedde Katikkiro nti eddoboozi lye naddala ku nteekateeka ya Mwanyi Terimba lyatuuka bulungi mu bannabuddu era nga libayambye nnyo okukyuuka mu byenkulakulaana n’ennyingiza mu maka gaabwe.
Abantu ba Kabaka okuva mu ggombolola 4 okuva mu ssaza Buddu be bakiise embuga mu nkola ya Tondeka mu Luwalo nga kuno kubaddeko; Mutuba VII Lwengo, Mutuba XXIII Kyazanga, Mutuba II Bigassa ne Mutuba XIII Kiseka.