Katikkiro Mayiga atongozza enkola ya Luwalo Lwaffe 2025

Agafa e Mengo Feb 21, 2025
Share This

By Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga atongozza enteekateeka ya Luwalo Lwaffe ey’omwaka 2025 naasaba abantu ba Kabaka obutakoowa kuwagira nteekateeka eno emirimu gisobole okutambula.

Omukolo gw’okutongoza enteekateeka eno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano era  wabagyiddwawo omulamwa gwa ‘Tondeka mu Luwalo’ okwongera okukubiriza abantu okweyuna enteekateeka eno.

Owek. Mayiga asinzidde wano naasaba Abaami okutambulira mu bwerufu mu nteekateeka y’Oluwalo era nga buno bulina okulambikira ku buli mutendera era y’ensonga lwaki omuwanika awa entebya  y’oluwalo buli mwaka.

Abakubirizza okunnyikirira kaweefube ow’enjawulo omuli okulima emmwaanyi naabasaba obutakaaba bizibu era baleme kukuumira maaso ku bbeeyi ya mmwaanyi naye bakole kimu kyakugirima.

Minisita wa gavumenti z’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki ategeezezza nti enkola gyebagulawo eya ‘Tondeka mu Luwalo’ (Mutongole model) nga yagenderwamu okulaba nga buli gombolola liba n’akakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z’oluwalo.

Owek. Kawuki wano waasinzidde nayanjula amasaza ga Buganda agasinga okukiika ne nsiimbi nga essaza Kyaddondo lye lyalya mu malala gonna akendo kwassa, egombola,emiruka ne nnyumba z’abaami ezasinga okukiika mu 2024.

Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Mawogola, Muteesa Owek John Kankaka asabye abakiise mu luwalo lunno okugoberera enambika eyabawebwa omwaka gunno omwali okuyikira okola ennyo, okwewaayo okwelabirira wamu okufuba okulaga obumu.

Amagombolola agawera 5 ge galeese Oluwalo lwa bukadde ana mu musanvu mw’ emitwalo asatu mwenna.

Omukolo guno gwetabiddwako baminisita abenjawulo, bassenkulu b’ebitongole, Abaami b’ Amasaza, abamagombolola, abemiruka, abatongole kwossa n’abantu ab’enjawulo.  

LANGUAGE