
Bya Samuel Stuart Jjingo
Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda Owek. Dr. Anthony Wamala ajjukiza abakulu b’ebika ku mitendera gyonna okuteekateeka obukulembeze bw’ebika byabwe byongere okuggumira olwo abazukulu babyetanire.
Minisita okwogera bino abadde ku mu nteekateeka y’okulambula obutaka bw’Ekika nga ku mulundi guno abadde ku e Bubiru, Busiro mu b’e Mmamba Namakaka n’e Ssama, Mawokota mu b’Omusu.
“Ebika gwe musingi Obuganda kwebutambulira era bisaana okunyweza obukulembeze n’ensibuko,” Minisita Wamala.
Oweek. Wamala asabye abakulembeze mu bika okutema empenda ezongera okwagazisa abazzukulu ebika byabwe, abakubirizza, okukuuma ebifo by’embuga okutudde obutaka bw’ebika, n’okubiyooyoota okwongera okugyayo ekitiibwa ky’Ekika.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba asinzidde ku butaka bw’e Mmamba n’asaba abazzukulu okufuula ebika byabwe eby’amaanyi era ebibaweesa ekitiibwa. Ono agamba abazukkulu basaana bawagira enteekateeka z’Ebika ez’enjawulo era bazenyigiremu.
Omukulu w’Ekika ky’e Mmamba Omutaka Gabunga Mubiru Ziikwa V yebazizza bazzukulu be olw’enteekateeka zonna ze bakola mu Kika n’abasaba okwagala ekika kyabwe okusobola okukuumira Obwakabaka ku ntikko.
Omutaka Muyingo Samwiri Bulega Mukasa, omukulu w’Ekika ky’Omusu, asiimye nnyo enteekateeka ey’okulambula Obutaka bw’Ebika era agamba nti eno ejja kuvaamu ebibala bingi ddala, okusingira ddala okuzuukusa abazzukulu okujjumbira enteekateeka z’Ebika ez’enjawulo.
Minisita Wamala mu kiseera kino alambudde Ebika ebiri mu 30 era akyagenda mu maaso n’enteekateeka eno okutuuka nga buli butaka bwa Kika abutuuseeko.