
Bya Ssemakula John
Ssingo
Minisita w’Obwakabaka ow’Ebyobulimi, Obulunzi n’Obwegassi, Owek. Hajji Amis Kakomo asabye abalimi okufuba bagatte omutindo ku mmwaanyi okwongera okuzifunamu.
Obubaka buno abuwadde alambula balimi abagenda okusunsulwamu abanaalambulwa Katikkiro Mayiga mu mwezi ogujja (Mukutulasanja) nga aggulawo enteekateeka ya Mmwaanyi Terimba ey’omwaka 2025.
Owek. Kakomo ategeezezza nti ku mulundi guno batunuulidde nnyo abalimi abalina omutindo gwebongera ku mmwanyi naddala abakyala nabavubuka ate nokusitula obwegassi nakubiriza abantu be Ssingo okujjumbira okukolera awamu ngamaka okusobola okwekulaakulanya.
Minisita Kakomo agumizza abalimi b’emmwaanyi ku nsonga y’akatale nti Obwakabaka bwatondawo ekitongole kya Mmwaanyi Terimba Limited okusobola okwongera omutindo ku biva mu mmwanyi za Buganda, ngekimu ku bibala ye kkaawa Mpologoma ekireese enkyukakyuka mu bantu ba Beene.

Omwami wa Kabaka akulembera essaza Ssingo, Mukwenda Deo Kagumu ategeezezza nti abantu e Ssingo bajjumbidde okulima emmwaanyi ate mu nnima ey’omulembe nga kaweefube ow’okubakunga akulembeddwamu Abaami ba Kabaka mu Ssingo neyeebaza Ssaabasajja okuvaayo nenkola eno.
Abalambuddwa kuliko; Simon Kiyingi omutuuze mu butongole bwe Kalagi e Kyannamugera, Muyingo Samuel owe Kyengeza, abegassi aba Myanzi Coffee Farmers Savings and Credit co-operative Society Limited mu ggombolola ya Mut VII Myanzi, Kavuma Emanuel owe Nnabusolo-Bubajjwe, Juliet Nabateregga ne Kalema Edward abe Nabusolo-Nalyankanja mu ggombolola ya Musaale Bulera.
