Minisita Kazibwe asabye abatikkiddwa okubeera abeerufu

Amawulire Jan 23, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Nansana – Busiro

Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke asabye abayizi abatikkiddwa mu bukugu obw’enjawulo ku matendekero mu ggwanga okubeera abeerufu ensi esobola okubasembeza.

Okusaba kuno  Minisita Kitooke akukoledde ku kabaga muwala we Ndagire Sonia Ssengonzi kweyeebaliza  Katonda olw’okukuguka mu bibalo okuva ku ssentendekero e Makerere ku Lwokusatu  ku Wilsen Hotel e Nansana.

Owek. Kazibwe asabye Ndagire n’abalala okukozesa obwerufu, okwagala n’obuyiya mu buli kimu kibafuule ab’enjawulo olwo ensi ebayaayaanire.

OmujaguzaNdagire, Minisita Kitooke  amusabye alabire ku kitaawe  Mw. Wilson Ssengonzi ku ngeri gyatambuza emirimu gye olwo kimusobozese okukola afune ettutumu n’okwagalwa abantu.

Omukolo gwatandise n’okusaba era wano Rev Fr. Kalyesula Kimanje (PhD) akuutidde abayizi bano obutakulembeza ssente mu kyebakola wabula balabe nga bakola n’obwesige bafune obuganzi mu bantu bebakola nabo.

Fr. Kalyesubula era asibiridde Sonia okweyisa nga omuntu asomyeko asobole okukuuma kitiibwa kya famire gyavaamu.

Sonia Ndagire yeebaziza nnyo Katonda olw’ekirabo kya taata we amuyambyeko ennyo natuukiriza  obuvunanyizibwa bwe nga taata nga amuwa buli kyeyataaga okumusobozesa okutuuka ku kkula lino.

Sonia muwala wa muganda wa Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Mw. Wilson Ssengoonzi.

Omukolo guno gwetabidwaako abakungu ba Ssaabasajja Kabaka okuli Omuk. Patrick Sserusa, Omuk. Godffrey Katabaazi, abasubuuzi abaggundivu mu kibuga ab’enjawulo nabantu abalala.

LANGUAGE