Minisita Wamala amalirizza okulambula Obutaka obuli e Buddu,  Abaayo abasabye okugatta abazzukulu

Agafa e Mengo Mar 14, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Buddu

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono, Owek.  Dr. Anthony Wamala  akomekkerezza okulambula Obutaka obw’enjawulo obuli mu ssaza Buddu nga kuno kubaddeko;  obw’ Omutima omuyanja e Bbaale, Buyaga mu Buddu.

Olwaleero, Owek. Wamala atuuseeko ku Mugga gwa Namata ogw’ekijjukizo mu kika kino era asinzidde wano naddamu okusaba abakulu mu Kika okunyweza obumu era bagatte abazzukulu.

Minisita Wamala agamba nti engeri eri emu Obwakabaka okusobola  okuggumiza Ebika bulina kuyita mu bukulembeze bwabyo, okubikulaakulanya  n’okukuuma obugagga bwabyo nga buyambako okutandikawo ebintu ebivaamu ensimbi ezibiyimirizaawo.

Abakuutidde  engeri gyebasobola okutuukirira abazzukulu b’ekika kino abali ebule n’ebweya bayambeko ku nkulaakulana yabyo n’okunyweza obumu.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba abasabye okussa ekitiibwa mu buwanga n’ennono nga bayita mu kutuuma amannya gabwe ag’ekika nga eno y’engeri gyebagumizzamu ekika.

Omukulu w’Ekika kino Omutaka Namugera Kakeeto Nicholas Kasekende ayaniriza ekirowoozo ky’Obwakabaka okubalambula nekigendererwa ky’okukulaakulanya Obutaka bwabwe nga baliko byebatandika edda  nga okusimba obupande obulaga obuvo bwabwe.

Katikkiro w’Ekika kino,  Luberenga John Mary ategeezezza Minisita nti ekika kyabwe kimanyiddwa okubeera nga kyabavubi nga kino kivira ddala ku kubeera nga bassibuka ku nnyanja.

Ekika kino kyanjulidde Minisita enteekateeka nnamutayika egendereddwamu okuzimba, okukulakulaanya n’okuyoyoota ekifo kino eky’ennono nebakunga abazzukkulu okubakwasizaako.

Kinajjukirwa nti Minisita alambudde obutaka obwenjawulo okuli; Obutaka be’ Ekika ky’Engabi Ennyunga e Bwende Kyesiiga mu Buddu,  Obutaka bw’Ekika ky’Ente e Mulema – Kyesiiga mu Buddu, Obutakka bwa Ngaali e Buzooba -Buwuunga mu Ssaza Buddu,  Ekika kya Namungoona e Kasaka Buddu, Ekika ky’Ekinyomo e Kyasa n’ Ekika ky’Omutima e Bbaale.

LANGUAGE