Bya Saava Kevins Kanyike
Butesaasiira-Butambala
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono, Embiri, Amasiro, n’Ebyokwerinda, Owek. Anthony Wamala akubirizza Abazira Ngo okwagala ekika kyabwe nga n’abakulembeze b’Ebika bwe bakola ennyo okukulaakulaanya ebifo by’ennono okwongera okusikiriza abazzukulu okubyeyunira.

Minisita okwogera bino asinzidde ku butaka bw’Ekika kye Ngo e Bukesa Buteesaasira mu ggombolola ya mumyuka Kalamba mu Ssaza lye Butambala gye yetabye ku mukolo gw’okulamaga mu kika ky’e Ngo.
Minisita akuutidde abakulembeze b’e Kika okukunga n’okwagazisa abazzukulu ensonga z’Ebika, okukuuma ettaka ly’Obutaka n’okukola emirimu egivaamu ensimbi ezinaabiyamba okweyimirizaawo: “Ekika kye Ngo nkisaba kyongere amaanyi mu kuteekateeka obukulembeze kuba gwe muti buli muzukulu kwe yekutte, bwetuba twagala okufuna ensimbi abazzukulu tubasabe ensimbi entonotono ze basobola okuwaayo nga tebanyigirizidwa” Minisita Wamala bw’anyonyodde.
Oweek. Wamala yekokkodde obukambwe obukozesebwa abakuumaddembe ku bazzukulu ba Buganda Bannabyabufuzi naddala mu kiseera kino nga abeegwanyiza ebifo eby’okulembeze ebyenjawulo banoonya akalulu. Ono alaze nti tewali afuna mu ffujjo likolebwa kyokka n’ajjukiza abazira Ngo nti abasirikale abalabibwa baganda bqabwe kale kisanidde babagambeko okukomya enneeyisa etasaanidde.
Omukulu w’ekika kye Ngo Omutaka Muteesasira Tendo Keeya Henry Namuyimbwa II ategeezezza nti bwebaba baakukuuma ennono, mu maka wasaana okubeerawo obutebenkevu, era wano avvumiridde obutabanguko mu maka ga Baganda. Agamba nti emirembe mu maka g’Omuganda ge gawanirira Bugaada y’awamu okiggumira olwo emijiji emito egifulumizibwa gibeere miywevu okutambuza ebika.
Omutaka Muteesasiira alaze nti wadde tekinologiya azze yeyubulira mu bazzukulu ba Buganda n’abe Ngo okutwaliza awamu, bazzukulu be yonna gye bali bateekwa okukuuma empisa zaabwe wamu n’obutava ku nnono.
Katikkiro w’ekika kye Ngo Kalyango Nelson Kaseenene aweze okunyweza obukulembeze mu kika okutandikira mu nju nga bayimirira na buli muzira Ngo mu biseera by’essanyu ne eby’ennaku kyokka ate n’enkulaakulana ya buli ssekinomu naddala mu mu byensimbi.

Akikirira essaza Kyaddondo mu lukiiko lwa Buganda ate nga ye muwanika w’ekika kye Ngo Ssenabulya Evans anyonnyodde nti bakyalina omulimu gw’okununula ettaka lye kika nga basubira okulizimbako essomero erinaaliikiriza emirimu mu kika.
Omwami wa Kabaka amulamulilako essaza Butambala, Katambala Hajji Sulaiman Magala alaze nti singa enteekateeka y’okulamaga esaasaanira Obuganda bwonna ejja kuleetawo enkulaakulana mu Bika.