
Bya Gerald Mulindwa
Wakiso – Busiro
Omubiri gwa Nnaalinnya Gertrude Christine Tebattagwabwe guterekeddwa mu Masiro ga Omulangira George William Mawanda e Namasanga Wakiso.
Essaala eziwerekera omugenzi zikulembeddwa Ssaabadiikoni w’e Nateete Ven. Canon Godfrey BK Buwembo, ayogedde ku Nnaalinnya nga omuntu abadde yenyumiriza mu kubeera omuganda ate n’omukristo. Yebazizza Katonda olw’ekirabo kyamuwadde eky’emyaka 80 ate n’asigala nga akyategeera bulungi.
Katikkiro mu kwogerako eri abakungubazi ategeezezza nti Nnaalinnya Gertrude Tebattagwabwe, abadde mukazi wa kisa, nga ayagala abantu era abadde ayagala nnyo Ssaabasajja Kabaka era nga amuweereza obuteebalira. Ayongeddeko nti ono abadde mukozi nga alina ‘Mumbejja Party group, enkozi y’emirimu newankubadde nga mu mirembe egy’edda Abalangira n’Abambejja tebaakolanga.

Katikkiro gamba nti ekitiibwa ky’omuntu kiri mu kukola n’obunyikivu nga Nnaalinnya Gertrude Tebattagwabwe bw’abadde.
Ku lw’Abaana, James Ssempala yebazizza Kabaka olw’okulaga mwannyina omukwano mu kaseera ak’obulwadde ne mu bulamu, ssaako n’Abantu ssekinnoomu abajjanjabye nnyabwe awatali kwekanassa.
Omulangira David Namugala, atenderezza obuyiiya bw’omugenzi bw’akozesezza okulabirira abaana ate n’abagunjula bw’atyo n’asaba Abaana b’omugenzi okutwala obuyiiya buno mu maaso nabo balabirire ab’enganda.
Minisita omubeezi owa tekinologiya, Hon. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, ku lwa Gavumenti, ayogedde ku Nnaalinnya Tebattagwabwe nga omuntu eyarwanirira Obuganda okulaba nga buddizibwawo era Katonda yawulira e ssaala ze ne buddawo mu 1993.

Omugenzi afiiridde ku myaka 80 era alese Abaana n’abazzukulu.