
Bya Miiro Shafik
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asiimye n’aweereza Obuganda obubaka obw’Amazaalibwa ga Yesu Kristo n’omwaka omuggya 2026.Omuteregga asoose kwebaza bantu be essaala ze bamusabira n’omukwano gwe balaga bulijjo eri Obwakabaka.
“Tubeebaza essaala ze mutusabira n’omukwano gwe mutulaga bulijjo. Naffe tubasabira. Twebaza Katonda atusobozesezza okutuuka ku Mazaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristu ag’omwaka 2025” Beene.
Omuteregga ssi musanyufu n’ebikolwa ebimenya amateeka n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu ebirakidde mu kiseera ky’okunonya akalulu naddala eri ab’oludda oluvuganya Gavumenti.
“Abantu baffe bangi batuusiddwako obulabe omuli; okukubwa, okulemesa abeesimbyewo okutuuka mu bifo gye bategeka okwogera n’abalonzi, n’ebikolwa ebirala ebimenya amateeka n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu. Bannaffe ab’olukiiko oluvunaanyizibwa ku by’okulonda mu ggwanga, tubasaba obutavumirira buvumirizi nsonga eno wabula n’okuyamba awatali kyekubiira, buli eyeesimbyewo okutuusa obubaka bwe eri abalonzi, awatali kulemesebwa n’okutulugunya abantu mu ngeri yonna. Ebikolwa bino tubivumirira kubanga tebiraga bugunjufu wadde enkulaakulana y’eggwanga” Kabaka Mutebi II.
Maasomoogi akubirizza abantu okulonda n’obwegendereza mu kiseera kino ng’ebyobufuzi biyiriddwamu ensimbi ezitamanyiddwa wa gye ziva.
“Ebyobufuzi n’okulonda abakulembeze bye tulaba kati bijjuddemu okuyiwa ensimbi mu ngeri ey’ekyeyonoonero era twebuuza nti, ensimbi ennyingi bweziti, ziva wa? Okulonda okuyita mu mbeera bweti, kuleetera abantu abatalina busobozi okutuuka mu bifo by’obukulembeze, ne basooka okwesasula ensimbi ze baakozesa mu kulondebwa. Ono ye kanaaluzaala w’enguzi n’okukotoggera enkulaakulana y’eggwanga lyaffe N’olwekyo, tubakubiriza okulonda n’obwegendereza” Kabaka Mutebi II.
Ssaabalongo akubirizza abantu be okutwala ensonga y’okutereka emmere nga nkulu nnyo naddala mu kiseera kino ng’enkuba etonye kitono n’ebwakyandisuubiddwa, era asabye Gavumenti okukendeeza emisolo ku byuma ebikozesebwa abalimi.
“Enkuba ekyali ya mwero mu bitundu ebisinga obungi mu ggwanga, ate nga mu mwezi gwa Museenene ne Ntenvu, twandisuubidde enkuba nnyingi mu bitundu byonna. Kino kitegeeza nti, emmere naddala kasooli n’ebijanjaalo omusana gubikosezza nnyo. Tubasaba okuddamu okutwala ensonga y’okutereka emmere naddala emmere enkalu ng’ekintu ekikulu mu bulamu bwaffe. Gavumenti, tugisaba okwogera amaanyi mu kugabira abantu baffe naddala abaliraanye awali amazzi ebyuma ebibasobozesa okufukirira ebirime. Okukendeeza emisolo ku byuma ebifukirira nakwo kwetaagisa kisobozese omuntu wa bulijjo okubyegulira asobole okufuna amakungula amalungi.” Beene.
Nnyinimu alabudde ku mbeera y’abaana ababuzibwawo oluvannyuma ne byasangibwa nga battibwa abamu nga basaliddwako ebitundu by’omubiri ebimu, asabye abazadde okubeera obulindaala n’abakuumaddembe okwongera amaanyi mu kukuuma abantu n’ebintu byabwe.
“Twongera okuwulira abantu abalina abaana ababula ne bataddamu kulabika, oluvannyuma tusoma mu mpapula z’amawulire nga, abaana abamu battibwa mu bukambwe obuyitiridde n’okubasalako ebitundu by’omubiri. Twali tulowooza nti, ebikolwa nga bino byaggwaawo naye, bizzeemu buto. Kuno kw’ogatta n’abazigu abaakazibwako ab’ebijambiya abalumba abantu ekiro. Tubasaba okwekuuma n’okukuuma abaana baffe naddala mu biseera bye tulimu eby’ennaku enkulu. N’abakuumi b’eddembe okwongera amaanyi okukuuma abantu baffe n’ebintu byabwe.”
“Tubaagaliza Amazaalibwa ga Yesu Kristu agajjudde essanyu n’omwaka omuggya gujjule emirembe n’obulamu obulungi” Kabaka Mutebi II.
Obubaka bwa Nnyinimu busomeddwa Owek. Israel Kazibwe Kitooke Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabak.


