Obwakabaka bukungubagidde Corporal Julius Mukasa Mulyanga abadde Ddereeva wa Nnaabagereka

Amawulire Apr 15, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Kireka –  Kyaddondo

Obwakabaka bukungubagidde Corporal Julius Mukasa Mulyanga  abadde Ddereeva  era omukuumi wa Nnaabagereka Sylvia Nagginda okumalira ddala emyaka 20.

Obubaka bw’ Obwakabaka, Katikkiro Charles Peter Mayiga abutisse Minisita Chotildah  Nakate Kikomeko nabusomera abakungubazi mukusabira omwoyo gw’omugenzi okubadde mu kkanisa ya St. Stephen’s e Kireka ku Mmande.

Kamalabyonna Mayiga mu bubaka buno atenderezza obukakkamu n’obwegendereza bw’omugenzi mu buweereza bwe naddala mu bbanga ly’amaze ng’avuga Nnaabagereka.

Asaasidde nnyo abooluganda lwe, Nnamwandu n’abaana n’asaba Katonda abagumye n’omugenzi amuwummuze mirembe.

Bw’abadde ayogerako eri abakungubazi, Nnaabagereka Sylvia Nagginda alaze okunyolwa olw’okuviibwako omuweereza ono gw’agambye abadde muwulize nnyo ate ng’ayagala nnyo omulimu gwe, naye bwatyo asaasidde nnyo abooluganda lwe ne baweereza banne.

Ssenkulu wa Nkuluze ekitongole ekivunaanyizibwa ku b’ebyokwerinda mu Bwakabaka era ekibadde kitwala omugenzi, Omuk. John Kitenda, ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde omuyiiya nga newankubadde yatandika akola mu byakwerinda mu Bwakabaka ate mangu nnyo yakuguka mu kuvuga emmotoka ate n’abeera mutetenkanya ddala n’abaako enkulaakulana gye yetusaako n’aboomumaka ge.

Abakulu mu byokwerinda ababadde batwala Cpl. Mulyanga okuli Col. Edward Herbert Tahunga ne Capt. Christopher Lutwama batenderezza obwesigwa n’obuwulize ebibadde byeyolekera mu mugenzi, era bakubirizza n’abantu bulijjo okufaangayo okwekebeza emibiri gyabwe newankubadde tebawulira bulwadde.

Omugenzi wakuziikibwa enkya ku kyalo Kanywa, Naluzaali e Masaka mu Buddu.

Okusaba kuno kwetabiddwako; Abaweereza ab’enjawulo mu Bwakabaka, Abajaasi okuva mu UPDFabooluganda n’emikwano gy’omugenzi.

LANGUAGE