Obwakabaka busiibiludde Abasiraamu, Owek. Kaawaase akuutidde Obuganda ku bumu

Amawulire Mar 08, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda busiibuludde Abasiraamu abali mu kusiiba mwezi gwa Ramadhan 2025 era nebukuutira Obuganda okubeera obumu akadde konna.

Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano era nga gwetabiddwako abakulu mu eddiini y’ Obusiraamu awamu n’ abakugu ba Beene.

Bw’ abadde ayogerera ku mukolo guno,

Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo asinzidde wano naddamu okujjukiza abantu ba Buganda obumu ng’ensonga enkulu ddala mu nkulaakulana ya Buganda.

Owek. Kaawaase akinogaanyiza nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka yaakulembeddemu ku nsonga y’obumu ng’agatta abantu be ab’enzikiriza ez’enjawulo, abaawula ebibiina by’obufuzi, n’okukolagana na bantu b’amawanga gonna.

Prof. Kaawaase Kigongo yeebazizza Katonda akuumye Kabaka okutuuka mu kiseera kino ng’agenda kuweza emyaka 70 egy’obulamu, era wano akunze Obuganda okujjumbira enteekateeka ez’okujaguza amazaalibwa gano, omuli n’emisinde eginaabaayo nga 06/04/2025.

Asabye abakulira amasomero, ebitongole, Bannaddiini, Bannabyabufuzi n’abantu abalala bonna okujjumbira okwetaba mu misinde kubanga ng’oggyeko okutaasa obulamu, gireeta abantu ba Kabaka awamu ekyongera okunnyikiza obumu mu Buganda.

Ye Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi,  ategeezezza nti Ramadhan mwezi gwa njawulo, era gwa kitiibwa olw’ebitendo ebingi ebigulimu okuli; emiryango gy’e Jannah okubeera emiggule,  Shayitwani okubeera ku njegere, n’ebirala.

 Ono agamba nti Oyo yenna akola ekibi, abeera akikoze na mwoyo gwe, si mbeera ndala yonna.

Sheikh Galabuzi avumiridde ebikolwa ebirakira mu kalulu k’e Kawempe n’ajjukiza ababikola nti tewali agenda kubeera ku nsi lubeerera, wabula waliwo akaseera okudda eri Omutonzi.

Wano akubirizza abantu okulumirirwa bannabwe n’okukwata empola buli nsonga olwo ne Katonda ajja kubasiima naddala mu kiseera kino nga kumpi abantu mu nzikiriza ez’enjawulo bali mu kusiiba. 

Sheikh Galabuzi yeebazizza Ssaabasajja olw’okusiima buli mwaka n’ateekawo enteekateeka ey’okusiibulula Abasiraamu ekumaakuma abaddu ba Allah okwongera okumanya nti Kabaka waabwe abaagala nnyo, era amusabidde Allah ayongere okumuwangaaza okusukka ku myaka 70 n’okweyongererayo ddala.

Sheikh Yasin Kiweewa akulembeddemu okubuulira ku mukolo guno, ajjukiza abantu ba Katonda okwewala ebintu byonna ebiyinza okutta okusiiba kwabwe era essira alitadde ku kwewala obutambuze  mukiseera kino.

Ono akikaatiriza nti ekisiibo si kulumwa njala, wabula kweddaabulula na kukyusa mu mbeera za buntu n’okulongoosa mu maaso ga Katonda.

Omukolo guno gwetabiddwako; Omulangira David Kintu Wasajja, Bannaalinya Abalangira n’Abambejja, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda n’Omumyuka we, Baminisita ba Kabaka, Abaami Ab’amasaza, Bassenkulu b’ebitongole, Bamasheikh ab’enjawulo n’abantu abalala bangi.

LANGUAGE