
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Bugandaa bulabudde okukwata omuntu yenna aneenyigira mu kububa ettaka lya Kabaka awatali kutaliza baami ku emitendera egy’ enjawulo.
Okulabula kuno kabadde mu bubaka bwa Katikkiro bwatisse Ssaabawolereza wa Buganda Oweek. Christopher Bwanika bw’abadde atikkula oluwalo oluleeteddwa abantu ba Kabaka abavudde mu Masaza; Bulemeezi ne Ssingo abaleese oluwalo olusobye mu bukadde 14 ku Mbuga e Bulange Mmengo.
Oweek Christopher Bwanika ategeezezza nti Obwakabaka bumaze okukwatagana ne woofiisi y’omuwaabi wa gavumenti okukangavvula buli oyo yenna eyeetaba mu bikolwa eby’obufere ku ttaka lya Kabaka.

Katikkiro akkaatirizza ensonga y’okukuuma, okukulaakulanya, okutaasa ensalosalo za Buganda awamu n’Embuga za Ssaabasajja ku bantu abeesowoddeyo okwenyigira mu bikolwa bino era n’alabula nti ensonga zonna ezikwata ku ttaka ly’Obwakabaka zikwatibwako ekitongole kya Buganda Land Board.
Kamalabyonna abakubirizza obuteetundako ttaka kulyemalako kubanga Kabaka ayagala abantu be bekulaakulanye nga bayita mu nteekateeka z’Obwakabaka okugeza Mmwanyi Terimba, okulunda n’okulima.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu nga akiikiriddwa Oweek. Noah Kiyimba abakubirizza okugoberera obubaka obuva mu Bwakabaka ate n’obutawa budde ebyo e bibajja ku mulamwa.
Omumyuka wa Kangawo asooka, David Lule Muzzanganda, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okuwa abaami be Ggombolola entambula ya pikipiki n’eggali ebasobozeseza okutuusa enkulaakulana ku bantu ba Kabaka mu bitundu gye bawangaalira.

Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka Asooka owa Kangawo Mw. David Lule Muzzanganda, Oweek. Mariam Kaberuka, abantu ba Kabaka okuva mu Ggombolola; Musaale Wakyato Mutuba X ne Mutuba XII Gayaza okuva e Bulemeezi awamu ne Watuba okuva e Ssingo.