
Bya Samuel Stuart Jjingo
Ssingo
Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde abaluŋŋamya ku balabe abali mu mulimu gwabwe n’abasaba okuteekawo emisomo nga giva mu bakugu babayigirize ku bye balina okwogera ku mikolo naddala ku bazadde b’abaana abafumbirigana.
Bino bibadde mu bubaka bw’atisse Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka ku mukolo abaluŋŋamya b’emikolo kwe bakuliza olunaku lwabwe mu Buganda.
Katikkiro asabye abalaga emikolo ku TV okuboola abo bonna abatali balungamya ba mikolo kubanga tebamanyi kirina kukolebwa, bakomekereza batyobodde obuwangwa n’ennono.
Owek. Mayiga akubirizza abaluŋŋamya obutataabikiriza byabufuzi mu mikolo gyabwe kibayambeko okuteeka amaanyi mu kye basobola okukola beewale enjawukana mu bantu ababawa emirimu.
Ku lwa Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala, Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko yebaziza abaluŋŋamya okukiriza okuwabulwa okuva mu kitongole kyabwe n’abasaba okussa mu nkola bye bayize nga bakozesa obuyiiya.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba agamba nti abalungamya bafuna okusomesebwa okuva mu Bwakabaka ekibayambye ennyo okumanya biki ebisaanidde okussaako essira bwatyo asabye abegasse ku balungamya bano okuli ba Katumwa ne ba selector okufuba okutuukiriza ebisanyizo.
Ye Omwami w’essaza Ssingo Mukwenda Owek. Deo Kagimu yebazizza abaluŋŋamya b’emikolo olw’okutereeza enteekateeka y’emikolo mu Buganda era abakubiriza okwongera ku bitabo bye balina, n’obuyiiya olwo emirimu gyabwe gibanguyire.
Ssentebe w’abalungamya b’emikolo mu Bwakabaka Mw. Kajja Ismail yebaziza Obwakabaka olw’okubantongola ne babawa woofiisi ebatwaala nga kati balina n’obukulembeze obugumidde.
Mw. Kajja ayanjulidde Kamalabyona bye bakozeeko mu bbanga ery’emyaka esatu gye bamaze mu bukulembeze omuli; okuvumirira abamansa entungo ku mikolo gy’obuwangwa, okwagasisa abantu okumanya ebika, bongedde okutambuza amawulire agava mu Bwakabaka, okukubiriza abantu okulwanirira obutondebwensi nga basimba emiti, okusomesa abantu eby’obuwangwa n’ebirala.
Wabaddewo emizannyo egizanyiddwa nga giggyayo ekifanaanyi ekituufu ku biki ebikolebwa ku mikolo egy’obuwangwa, era wano kikasiddwa nti Gomba y’ejja okutegeka omukolo oguddako omwaka oguggya.
