OBUBAKA BWA KABAKA KU LUNAKU LWABULUNGIBWANSI NE GAVUMENTI EZ’EBITUNDU 2025
Ku lunaku luno olwa Bulungibwansi, neGavumenti ez’Ebitundu, tutuusa okulamusa kwaffe eri abantu baBuganda mwenna wamu ne Uganda okutwaliza awamu.
Twebaza abateesiteesi b’omukolo guno, era tubeebaza nnyo.Omulamwa, “Tunnyikize Bulungibwansi ‘Obukulembezebw’Ebitundu nga twettanira Tekinologiya mu bavubuka tuzzeBuganda ku Ntikko” mulungi kubanga gukwataganan’okwolesebwa kw’Obwakabaka.
Olunaku olwa leero lutujjukiza omusingi ogw’amaanyiokutambuzibwa ennono zaffe, omwoyo gwa BULUNGIBWANS,era gutuyigiriza okubeera abakozi, okwagalana wamun’okukolaganira awamu tukuze eggwanga lyaffe.Bulungibwansi abayigiriza okuba n’obuvunaanyizibwa mubitundu byammwe gye mubeera, ssaako n’okukolera awamu.
Twebaza nnyo Abaami b’Amasaza wamu n’abakulembezeb’emitendera egiddako okutuukira ddala ku Batongole mubyalo,abakulembeddeobulungi abantubaffe.Obukulembeze bwammwe wamu n’okwewaayo, kusigaomwoyo gw’obumu mu bantu. Ekitiibwa kya Bugandakirabikira nnyo mu ntereeza y’obukulembeze, ate ne mu nkolaya Bulungi bwa Nsi, anti eraga obwagazi bwe tulina ku bitundu byaffe.

Twongera okukubiriza abavubuka mwenna okwettaniraenkozesa ya tekinologiya mu mirimu gyammwe. Tekinologiyaajja kubayamba nnyo mu kusitula omutindo gw’emirimugyammwe singa mu mukozesa mu ngeri entuufu, eraesaanidde. Sayansi atambuliza ensi ku misinde mingi; oyoanaalagajjalira tekinologiya ajja kusigala emabega.
Tukubiriza abantu ba Buganda mwenna okussa essira ku Bulungibowansi, okutumbula obukulembeze bw’ebitundu; eran’okukozesa tekinologiya mu ngeri esobola okuzimba Buganda ejjudde obumu n’enkulaakulana eneetuusa Buganda ku Ntikko.
Katonda Abakuume
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II