Bya Samuel Stuart Jjingo
Jjajja w’Olulyo Olulangira era Ssentebe w’Ennono n’Obuwangwa mu Bwakabaka Omulangira Ssaalongo Edirisa Luwangula Basajjansolo nga ali wamu n’abakulu mu kitongole kya Buganda Land Board balambudde Embuga ez’enjawulo okuli; eya Bamweyana e Katereke, eya Ssekabaka Kigala e Mmanja wamu ne Naggalabi mu Buddo.

Mu kaawefube Obwakabaka bwa Buganda gwe bulimu ow’okuddabiriza, okukuuma, okutaasa n’okukulakulaanya ebifo byonna eby’ennono bwasalawo okubirambula okumanya eky’etaagisa kyonna ku buli mbuga n’embiri bitangirwe okutundibwa n’okusaanyizibwaawo abatamanyangamba.
Ssaalongo Luwangula alabudde buli kinnoomu eyefunyiridde okuleetawo akatabanguko nga ayagala kwenyigira mu kibbattaka ku mbiri zino naddala mu kasera kano ak’e ggandaalo lya Ssekukkulu.

“Teri muntu yenna mu kiti kyonna kaabe mukuumi, mukulembeze akirizibwa kusaanyawo bifo bino wabula omulimu gwaffe gwa kukuuma nga bajjajja baffe bwe baakola n’abazzukulu basobole okuzisangawo,” Luwangula.
Omulangira Basajjansolo asabye Abalangira n’Abambejja abawangaalira mu mbuga zino okutangira abo bonna abesenza okuliraana n’ebitundu by’e Mbuga zino n’abategeeza nti buli ayagala okusenga wano asaanidde okuyita mu mitendera emituufu egiyitibwamu.
Ye Ssaabagabo Nsangi Wasswa Mathias Kutanwa asanyukidde nnyo enkola eno ekoleddwa Obwakabaka n’ategeeza nti kiyambyeko okulungamya baani abasaanidde okubeera mu mbuga zino n’ekyetaagisa okukolebwa nga ennono tetataganyiziddwa.
Omulangira Luwangula alambuziddwa emirimu egikolebwa ku mbuga zino n’egiriranyeewo era agumizza abatuuze nti Obwakabaka bugenda kukola kyonna ekisaanidde okuzikuuma.