Omulamuzi Omukulu e Bungereza Akyaddeko mu Buganda

Amawulire, Agafa e Mengo May 25, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Obwakabaka bukyazizza omulamuzi omukulu okuva e Bungereza; Sir Geoffrey Vos ono mulamuzi omukulu owa kkooti ejulirwamu mu Bungereza (England ne Wales).

Ku lwa Katikkiro Mayiga ali mu America mu kiseera kino, Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika ne Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke be baanirizza omulamuzi ono akwata ekyokubiri mu nsengeka y’Abalamuzi mu Bungereza.

Owek. Bwanika agamba nti okukyaza omumyuka wa Ssaabalamuzi mu Bungereza, si kyangu era kiraga enkolagana ey’amaanyi n’obugulumivu Obwakabaka bwe bulina mu nsi yonna.

“Okusembeza Omulamuzi omukulu wa Bungereza si kyangu. Kino kiraga obukulu bwa Buganda mu byafaayo by’ensi eno, n’okukakasiza ddala nti Buganda n’ebikolebwa obukulembeze bw’Obwakabaka bya nkizo ddala” Owek. Bwanika.

Ssaabawolereza Bwanika era asanyukidde nnyo abagenyi b’Embuga, nga bano bazze mu Uganda okwetaba mu lukuŋŋaana lwa kkooti z’ebyobusuubuzi “Commercial Courts Summit” olwasookedde ddala mu Africa nga lwabadde ku Speke Resort e Munyonyo. Bano basaazeewo okukyalako Embuga nga tebannava mu ggwanga.

Sir Geoffrey Vos, yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okubaaniriza obulungi, era asiimye nnyo embeera z’abantu mu Buganda n’enkulaakulana ez’enjawulo n’Ebyobulambuzi bya Buganda by’agambye nti bya kitiibwa nnyo era bya byafaayo ddala.

Sir Geoffrey Vos

Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Bwanika akulembeddemu okulambuza Abagenyi b’Embuga bano ebifo eby’enkizo eby’enjawulo mu Buganda era balambuziddwa Bulange awatuula Kabineeti n’ekisenge ky’Olukiiko lwa Buganda, balambuziddwa Twekobe ne Olubiri lw’e Mengo, ennyanja ya Kabaka n’Amasiro g’e Kasubi.

Sir Geoffrey Vos ye mulamuzi omukulu owa kkooti ejulirwamu mu Bungereza eyitibwa ‘Royal Court of Justice’ eri mu Kibuga London, ono aweebwa ekitiibwa kya ‘Master of the Rolls’ era ye mulamuzi addirira Ssaabalamuzi wa Bungereza.

Ono awerekeddwako Omulamuzi Tijjani Abubakar okuva mu kkooti ensukkulumu e Nigeria, Omulamuzi Nnamdi Dimgba okuva mu kkooti ejulirwamu mu Nigeria, Omw. Emmanuel Jani Finnodoro ono mukugu mu byobusuubusi mu Africa House e London, Omw. Omid Reza Nazari muyambi wa Sir Geoffrey wamu ne munnamateeka owa wanoHW. Jemimah Aciro ne Akatukwasa Lisa Liz.

LANGUAGE