
Bya Shafic Miiro
Kasubi – Kyaddondo
Enkumi n’enkumi z’abakungubazi bakung’aanidde mu Masiro g’ e Kasubi okwetaba ku mukolo gw’okutereka mukulu wa Beene, Omulangira Daudi Golooba eyaseeredde ku lunaku lwa Ssande.
Bano kubaddeko; Bannaalinnya okubadde Nnaalinnya Dorothy Nassolo,Nnaalinnya Dinah Kigga,Nnaalinnya Victoria Namikka,Nnaalinnya Sarah Kagere, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu, Omulangira Kalifaani Kakungulu, Omulangira David Kintu Wassajja, Omulangira Daudi Namugala, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Katikkiro Charles Peter Mayiga ,bakatikkiro abawummula, awamu ne baminisita ba Gavumenti ya Beene.
Bweziweze essaawa mukaaga ez’omutuntu, omubiri gw’Omulangira Daudi Golooba gutuusiddwa mu masiro e Kasubi neguyingiziddwa butereevu mu munda mu nyumba Muzibu-Azaala-Mpanga okuloopera ba Ssekabaka.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde wano ne yebaza Katonda olw’obulamu bw’awadde Omulangira Golooba gw’agambye nti muntu awagira ennyo Nnamulondo okuggumira era nga yeetaba nnyo mu mikolo gy’Obwakabaka naddala egiriko Nnyinimu. Wano akkaatiriza obukulu bw’Aboolulyo Olulangira okwetaba mu mikolo gy’Obwakabaka ng’agamba nti kino okunyweza Nnamulondo n’okusanyusa Abaganda.
“Mu Nsi, omuntu ebintu ebikulu by’asinga okwetaaga biri bibiri, abooluganda n’emikwano era omuntu atalina bino ne bw’abeera mugagga ekiwubaalo kijula okumutta” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna agamba nti okuvaayo kw’Omulangira Golooba kireseewo eddibu ddene mu Olulyo Olulangira ne bantu abalala kubanga abadde muwabuzi eri abantu ab’enjawulo ate ng’amanyi bingi okusinziira nti yalabako ne ku Kitaawe Ssekabaka Muteesa II okumala akaseera.
Owoomumbuga yebazizza Ssaabasajja Kabaka, Abooluganda, abaana n’emikwano gy’Omubuze olw’okumujjanjaba obulungi, era agamba nti obulamu bwe buganyudde abantu bangi.
Nnaalinnya Dorothy Nassolo kulw’ ennyumba ya Ssekabaka Muteesa ategeezezza nti Omulangira Golooba abadde ajudde okwagala okutasosola era abadde wankizo gyebali mukubalambika ku nsonga ezenjawulo.

Ye Ssaabalangira Godfrey Musanje alaze okunyolwa olw’okuviibwako Omulangira Golooba nti abadde wanjawulo era abadde kyakulabirako nasaba abazadde okuteekateeka abaana baabwe okusinga okubateekerateekera.
Akulira eddwaliro ly’ e Nsambya omulangira gyabadde ayajjanjabibwa, Dr. Andrew Ssekitooleko alambuludde obulwadde obuviiriddeko omulangira okusomoka nategeeza nti ebizibu byavudde ku Sukaali.
Abaana b’omugenzi bebaziza katonda olw’obulamu bwa wadde kitaabwe omulangira Golooba nebeyanza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okujjanjaba kitaabwe n’okumwagala.
Oluvanyuma omulangira Daudi Golooba afulumiziddwa mu Muzibu-Azaala-Mpanga nebumusaalira enteekateeka nga bakulembeddwamu Amyuka Supreme Mufti asooka Sheikh Ibrahim Ntanda Muzanganda n’oluvanyuma natwalibwa okuterekebwa.
Omulangira Daudi Ssimbwa Golooba yazaalibwa Ssekabaka Muteesa ow’okubiri n’o Muzaana Mangaderena Buwomyaki nga 14/4/1953 era weyasomokedde nga alina emyaka 71 era Omulangira Nadim Nakibinge yaamusikidde.