Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo

Ebiteeso mukaaga (6) bye biyisiddwa Olukiiko lwa Buganda olutudde nga 05 Muzigo 2025, nga lutunuulidde embeera nga bweyimiridde mu Buganda.
Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga bw’abadde ayanjulira Olukiiko n’Obuganda bwonna embeera nga bweyimiridde mu Buganda ayogedde ku nsonga okuli; ebbanja lya Gavumenti eya wakati eri Buganda, embeera y’ebyobufuzi n’akalulu akasembedde, ebikolwa eby’okuwamba abantu, embeera y’ebyenfuna mu ggwanga n’ensonga endala.
Newankubadde bino byonna Ababaka mu Lukiiko lwa Buganda babikubaganyizaako ebirowoozo, naye bonna bakkanyiza kimu n’ekiteeso ekyavudde ewa Owek. Moses Ggayi Mayanja akiikira abantu ba Kabaka ababeera e Seattle, nti Ababaka ba Paalamenti abava mu Buganda basaana okwetaba mu ntuula z’Olukiiko lwa Buganda n’okugoberera ebifa mu Bwakabaka olwo babituuse mu Paalamenti y’Eggwanga biteesebweko era babirondoole bigguke.
Ekiteeso kino we kyajjidde nga mu Lukiiko lwa Buganda mutuddemu ababaka ba Paalamenti babiri (2); Omubaka Erias Luyimbazi Nalukoola owa Kawempe North n’Omubaka Robert Ssekitoleeko ow’e Bamunaanika. Wabaddewo ne Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso Hon. Matia Lwanga Bwanika, ono nga naye ayagala kuyingira Paalamenti essaawa yonna.

“Olukiiko lusabye ababaka ba Palamenti abava mu Buganda bagoberere nnyo ensonga za Buganda zonna basobole okuzitwala mu maaso” Kino ky’ekimu kw’ebyo ebiteeso omukaaga ebyayisiddwa mu Lukiiko.
EBITEESO BYONNA EBYAYISIDDWA OLUKIIKO;
1. Olukiiko luyozaayozezza nnyo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll okuweza emyaka 70 egy’ekitiibwa era Iwongera okusaba Katonda amwongere emyaka emirala mingi.
2. Olukiiko luyozaayozezza Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 12 ng’akutte Ddamula olw’okukulembera obulungi.
3. Olukiiko Iwanirizza nnyo Kalakita Ssaabasajja Kabaka ze yawa Abaami Abaamasa kubanga zigenda kukola omulimu omulungi n’okwanguyiza ku balimi; Olukiiko era Iwebazizza amasomero ga nnaasale mu Masaza; wamu n’amalwaliro agatandikiddwawo.
4. Olukiko Iwebaza emirimu emirungi Omugenzi Amb. William S.K. Matovu gyakoze ng’aweereza Kabaka we.
5. Olukiiko lusiima enkolagana eriwo n’ekitongole kya ‘Grain Pulse’ olw’Ekijimusa ky’ebirime ekituufu ekinaagasa abalimi. Enkolagana Obwakabaka ze bulina n’ebitongole ebirala, nga eya Airtel, Centenary bank nazo zisimidda era zigende mu maaso
6. Olukiiko lusabye Ababaka ba Palamenti abava mu Buganda bagoberere nnyo ensonga za Buganda zonna basobole okuzitwala mu maaso.
