Omumbejja Diana Balizzamugale Teyeggala Aterekeddwa e Kasubi mu Masiro

Amawulire Dec 22, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Kasubi – Kyaddondo

Omumbejja Diana Lwantale Kirungi Balizzamugale Teyeggala y’omu ku baana ba Ssekabaka Muteesa II abasembayo obuto yaseerera mu kiro ekyakeesa olwomukaaga nga 20/12/2025, era aterekeddwa mu Masiro e Kasubi nga 22/12/2025.

Omumbejja asoose kusabirwa mu kkanisa ya St. Andrew’s e Kasubi era ng’okusaba kukulembeddwamu Rev. Canon Mpagi David Ssaabadinkoni w’Obundinkoni bw’e Kazo, ono atenderezza engeri Obwakabaka gye butambuzaamu ensonga z’obuwangwa n’ennono mu bintu eby’enjawulo ate nga butambulira wamu n’enzikiriza zonna. Ono akoowode abantu wakati mu mbeera ey’okweraliikirira eri mu ggwanga beekwate Kristo ajja kubataasa, era asabidde omugenzi Mukama amwanirize na kisa.

Katikkiro Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde omwangu, ng’asaaga nnyo ate ng’ayagala nnyo okukwata kw’abo abali mu bwetaavu. Ategeezezza nti ne mu biseera we yabeerera Minisita w’Abavubuka, omugenzi yamutuukirira nga nnyo ng’amuwa ebirowoozo naddala ku nsonga z’abavubuka. Ategeezezza nti ono abadde abeera nnyo mu bantu nga newankubadde Mumbejja nga mukakkamu mu bantu.

“Obwakabaka buggumira bulungi, Abalangira n’Abambejja abakulu bwe bakwatagana n’abakulembeze mu Bwakabaka era nga balabika mu bantu, kubanga abantu basanyuka nnyo nga balaba ku b’Olulyo Olulangira, Omumbejja ono abadde abeera nnyo mu bantu ate yatuwanga nnyo ebirowoozo naddala ku bavubuka, kale tumusaaliddwa nnyo.” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro atenderezza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’engeri gy’ayagaddemu muganda we, n’amulabirira ebbanga lyonna n’okumujjanjaba, yebazizza n’abe bukojja olw’okwagala muwala waabwe ono eyafiirwa bazadde be bombi ng’akyali muto nnyo.

Omulangira David Kintu Wasajja ku lw’enju ya Ssekabaka Muteesa II, ayogedde mu muganda waabwe ng’omuntu abadde alumirirwa Ensi ye nga ayagala nnyo Obwakabaka ne Kabaka muganda we. Agamba nti ono alese omukululo ogw’okwagala ennyo obutondebwensi ng’agamba nti omubuze yalina n’ekirowoozo okutegeka eggaali z’empaka ez’obuvanjuba bwa ng’ekigendererwa Kya kujjukiza bantu bukulu bwa butondebwansi.

Omul. Wasajja agamba nti ono abadde wa mugaso nnyo mu nju yaabwe era asinzidde wano n’asaba abolulyo okwongera okuzaala ng’agamba nti ba Kitaabwe ne Bajjajjaabwe baazaalanga nnyo ekyayambanga olulyo okubeera n’abantu ab’omugaso abawera ng’omubuze bw’abadde.

Abooluganda, n’emikwano bonna aboogedde ku Mumbejja Teyeggala bamwogeddeko ng’omuntu abadde ayagala ennyo abantu, ng’ayaniriza buli omu ate mu ssanyu.

Emikolo gy’okuwerekera Omumbejja gyetabiddwako Bannaalinnya, Abalangira n’Abambejja, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Kabineeti ya Kabaka, Abakungu ab’enjawulo, Bassaava ne Bannaava, Bannaddiini, n’abantu ab’enjawulo bangi ddala.

LANGUAGE