Owek. Mayiga alabudde ku yali Kaggo Owek. Tofiri Kivumbi Malokweza

Agafa e Mengo Apr 22, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Kyaddondo 

Katikkiro Charles Peter Mayiga akyaliddeko Kaggo eyawummula Owek. Tofiri Kivumbi Malokweza, okumusaalira obulwadde.

Owek. Mayiga Kaggo Malokweza amusanze mu makaage e Kyaddondo ku Lwokubiri.

Ono yebazizza Owek. Malokweza olw’okuweesa Obwami ekitiibwa ng’agamba nti y’omu ku bantu Kabaka Mutebi be yatandikirako okuwa Obwami, Obwakabaka nga buzzeewo kyokka wakati mu kusoomozebwa yakola omulimu gwa ttendo naaweesa Obwami ekitiibwa n’asikiriza n’abalala bangi okuweereza Obwakabaka.

Yeebazizza ne bonna abalabirira Owek. Malokweza mu mbeera y’obulwadde n’agamba nti omuntu bw’akula abeera yeetaaga abantu be okubeera naye mu mbeera zonna.

Malokweza yeebazizza Kamalabyonna Mayiga olw’ okumulambula era namwebaza nebyo byakolera Obuganda.

LANGUAGE