
Endwadde z’emitwe mu baaba b’amasomero ziyitiridde ensangi zino nga mu alipoota eyafulumizibwa ekitongole ki National Institute of Public health mu 2023 yalaga nti abayizi ebintu 45 ku buli kikumi (45%) basumbuyizibwa obuzibu obw’enjawulo ku mitwe olw’ensonga ezitali zimu.
Okumanya obulwadde bw’omutwe mu muntu kitera kwesigamizibwa ku bikolwa bye, era ebikolwa by’abayizi ebitali bimu nga okwetuga, okudduka awaka, okugaana okusoma n’ebirala ebikyase ennyo mu masomero ensangi zino byongera okukakasa kino.
Omuwandiisi mu lupapula lwaffe Gambuuze Pauline Nanyonjo, atuukiridde omukugu okulaba engeri abayizi abali mu mbeera eno bwe basobola okuyambibwa.Omwami Mukiibi Jude Tadius ye mukulu w’essomero lya St. Cornelius S.S Kalagala mu Buikwe District e Kyaggwe era musomesa omutendeke era omukugu mu ŋŋunjula y’abaana.
Mw. Mukiibi agamba nti ebikolwa by’abaana okwetta nga bwebizze birabibwa, biva ku nsonga z’obukosefu ku bwongo ‘mental health’ nga ebiseera bingi abaana nga bano bayita mu kusoomoozebwa okw’amaanyi embeera n’ebassukaka ekibaleetera okwennyika ne bakomekkerera nga beetuusizaako obulabe obulinga obwo.
Mw. Mukiibi agamba nti abaana okubulwa obudde okuva mu bazadde nsonga nkulu nnyo ebaviirako okwekyawa olw’ebyo bye bayitamu kyokka nga tebalina gwe babigabanako naye, nga mu mbeera eno bamaliriza basazeewo bbo nga bwe balabye naddala ensangi zino nga bagendera kw’ebyo bye balaba ku mitimbagano.
Omukugu annyonnyola nti n’amasomero tagataliza mu nsonga eno ey’obutatwala budde kwogerako na bayizi be basomesa kumanya bisoomoozo byabwe nga oluusi baba n’endowooza ez’obusagwa okuva awaka, olwo obusungu ne babumalira ku ssomero nga beekola ebikyamu. Ono mu by’alowooza okuyamba baana abali mu mbeera eno agamba nti ekisookera ddala kwe kubudaabuda wamu n’okudaabulula abayizi abakyakuuta ekkalamu nga bafuna endowooza ez’okweggya mu budde nga bakozesa enkola ze bagya ku mitimbagano.
Ono agamba nti buli muntu mu busobozi bwe asaaba okuyamba ku baana bano; okutandikira ku basomesa abamala obudde obungi n’abaana wamu n’okukozesa obukodyo obuze bubasomesebwa minisitule y’ebyenjigiriza wakati mu kufuba okulaba nga abayizi baabwe tebazibira bibasoomooza ku mitima.

Mw. Mukiibi akoowodde n’abakulu mu ddiini okufuba okugonza emitima gy’abayizi nga okutya kwabwe kudda mu Katonda so si amasanyu ge nsi.Mu mbeera y’emu twebuzizzaako ne ku mukugu mu byobulamu ebisookerwako David Muwonge nga obulwadde bw’omutwe (mental health) alaze ebibuleeta bya mirundi enna (4) okuli okukozesa ebiragalalagala mu bayizi ababifuna mu ngeri zonna ze baba basobodde nga bikyusa endowooza zaabwe n’entegera zaabwe ekibaleteera okwetuusako obulabe, ekyokubiri ekireetera abayizi okwekyawa okuva mu nsi bwe buwangaaliro mwe babeera nga kiviirako okukosa obwongo bwabwe nga ebimu ku biva mu bitundu ebyo kwe kuli okukabasanyizibwa eri abaana abawala, okutulugunya abazadde b’abayizi nga ebyo biviirako nnyo abayizi mu mbeera ezo okwenyamira mu mitima ekibaviirako okukola ensalawo enkyamu ez’okwejja mu budde
Omukugu Muwonge ensonga ey’okusatu; annyonyodde ya saayansi ng’agamba nti emibiri gy’abantu girina engeri gye gitambuzaamu emirimu munda mu ggyo, so nga zikemiko ezimu zisinga ku ngala amanyi olwo omuntu naabamu akazoole. Ate abandi obukosefu ku bwongo bubeera bwa famire nga kyandiba ekizibu okulaba nga bakifunuka so ne kitambulira ne baana be baba bazadde.
Ensonga ey’okuna Mw. Muwonge gy’anokoddeyo kw’ezo ennyingi y’eyo ereetebwa abantu abalaba oba abayita mu mbeera embi wamu ne biseera ebizibu (post-traumatic mental health syndrome) wano eby’okulabirako awadde by’abayizi abanafu okulaba abantu abesse, okulaba obubenje n’ebirala ebigwa mu mbeera eyo.
Amagezi omukugu David Muwonge g’awadde abazadde b’abayizi bano agasookerwako kwe kusembeza abo abayita mbeera oz’okwennyika olw’ensonga ezitali zimu, okunoonya okuyambibwa okuva mu basawo abakugu mu kujjanjaba endwadde z’obukosefu ku bwongo nga bazulira ddala ekituufu ekimusumbuwa omwana.
Asabye abazadde mu mbeera yonna basale amagezi okuyamba abaana baabwe okuyiga okukola so si kubawa bintu bya kukakeeka olwo bwe banaakula bajja kukalubirirwa ensi nga tebasobola kukola ekijja okukosa obwongo babwe abandi badde mu kukozesa ebiragalalagala.