Bya Pauline Nanyonjo
Wankulukuku-Kyaddondo
Bazzukulu ba Nankere ab’Ekika ky’e Mmamba Kakoboza basitukidde mu ngabo y’omupiira ogw’ebigere mu mizannyo gy’Ebika 2026 oluvannyuma lw’okumuba ab’e Nkima mu mupiira ogubadde ogw’ebbugumu n’okwolesa obumanyi ne waaka mu kisaawe kya Muteesa II e Wankulukuku.
Eddakiika ekyenda ziwedde tewali ttiimu erabye ku katimba ka ginnaayo ekiretedde omupiira ogwo okugenda mu kusimulagana penati, wano Mmamba Kakoboza n’ekuba Enkima ggoolo 4-3.
Katikkiro wa Charles Peter Mayiga yaggaddewo empaka z’omwaka guno n’akwasa abawanguzi Engabo n’ebirabo ebirala era mu kwogera kwe, ategeezeza nti emipiira gy’ebika gisenvudde olw’ebinonogo eby’ongeddwamu era n’ayozaayoza ab’e Mmamba Kakoboza olw’obuwanguzi bwe batuuseeko.
“Wabaddewo eky’enjawulo ku mulundi guno kubanga waliwo emizannyo emirala mingi nga omweso, chess, scrabble w’oluganda n’emirala kale abawanguzi bonna mbayozaayoza” Katikkiro Mayiga bwategezeza.
Oweek. Mayiga asabye abo bonna abawanguddwa obutaggwamu maanyi wabula betegekere empaka z’omwaka ogujja nabo bawangule. Kuno agasseeko n’omutindo gw’emizannyo gino gye gunaakoma okulinnyisibwa, abantu bajja kwongera okujjumbira okuwagira Ebika byabwe.
Minisita w’ebyemizannyo Oweek Robert Serwanga Ssaalongo yebazizza abazzukulu okuva mu bika byonna ebyetabye mu mupiira guno obutereevu wamu ne mu mizannyo emirala egizanyidwa okussuka ku mupiira.
Omuzannyi Mutebi Farooq ow’emmamba Kakoboza ye yebaziza Ssaabasajja olw’okubakiriza okusambira Ebika byabye kuba kitumbudde nnyo ebitone wamu n’okubawa omwaganya okuwereza eggwanga lyabwe Buganda.
Omuzzanyi Katumba Ivan ow’enkima alaze nti wadde tebawangudde ngabo 2026 wakiri okutuuka ku fayinolo kubamala kuba kiraga nti ssi banafu era kibongedde maanyi okwongera okuvvuganya omwaka ogujja.

Omupiira gwetabiddwako ebikonge ebyenjawulo okuli baminisita mu gavumenti ya Ssaabasajja, Abataka Abakulu Ab’Obusolya abakulembedwamu Namwama Augustine Kizito Mutumba, Olulyo Olulangira, abavujjirizi abenjawulo, abakulembeze ba tiimu ze bika, abawagizi ku mitendera egy’enjawulo.