
Bya Gerald Mulindwa
Bulange -Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abaweereza mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka n’abasibirira entanda okubeera abayiiya era abeerufu mu mwaka guno.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange Mmengo ku Lwokutaano era bano babanguddwa ku ntambuza y’ emirimumu mwaka guno omuggya 2025.

Owek. Mayiga abakubirizza okunyweza Nnamutayiika w’Obwakabaka abalambika mu ntambuza y’emirimu gyabwe, nga bakolera mu buyiya, obwerufu, obunyiikivu, okukola n’okwagala era nga tebeerabidde kuwa bantu be baweereza kitiibwa, okukuuma ebyama by’obwakabaka, bayambagane mu mirimu era bewale okwesukkulumya n’okukulembeza nfunira wa.
Ku nsonga y’okukuuma obulamu bwabwe nga bulamu, Katikkiro alina okukkiriza nti okukola dduyiro limu ku ddagala eritabuusibwa maaso era abasabye bamujjumbire kibayambe okubeera abalamu obulungi.

Abaweereza ba Gavumenti ya Kabaka be batambulirako enteekateeka zonna ezisoosowazibwa Kabineeti n’okulaba nti obuweereza butuuka ku bantu ba Kabaka yonna gyebali.