Owek. Mpanga asisinkanye Minisita w’ ettaka mu Bukama bwa Tooro

Agafa e Mengo Mar 27, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

KampalaMinisita w’ettaka n’ebizimbe mu Bukama bw’e Tooro, Oweekitinisa Vincent Agaba, asisinkanye munne bwe bafaanaganya emirimu mu Bwakabaka bwa Buganda, Oweek David F.K. Mpanga, nebawayamu ku nsonga ezikwata ku ttaka n’okwongera okunyweza enkolagana eriwo mu kulaba nga batuusa obuweereza obwannamaddala eri abantu be bakulembera. 

Owekitinisa Agaba azze okufuna amagezi okuva mu Bwakabaka ku ngeri gye bukwatamu ensonga z’e ttaka n’engeri e Kitongole kya Buganda Land Board gye kisobodde okuweerezaamu abantu ba Kabaka mu ngeri ezitali zimu, olwo naye atwale amagezi gano e Tooro bafune we batandikira mu kuddukanya ettaka ly’Obukama obulungi. 

Ensisinkano ebadde ku Bulange mu kakkalabizo lya Minisita w’Ettaka era nga yetabiddwamu ssenkulu wa Buganda Land Board, Omuk. Kaboggoza Simon.

LANGUAGE