
Bya Samuel Stuart Jjingo
Najjanankumbi – Kyaddondo
Abadiventi wonna mu masaza g’ Obwakabaka olwa leero abakedde mu kkanisa okwebaza Katonda olw’ obulamu bwawadde Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II era nebamukulisa okutuuka ku kkula ly’ emyaka 70.
Okusinza omukulu kuyindidde mu kkanisa ya Seventh Day Adventist Church e Najjanankumbi ng’ eno, Minisitule wa Kabineeti, Olukiiko n’ Abagenyi, Owek. Noah Kiyimba gyasinzidde nawa obubaka bwa Katikkiro eri abakkiriza.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ajjukiza abazadde okukuza abaana mu nonno n’obuwangwe bwabwe nga Ssaabasajja wabakubiriza basobole okutumbula obulungi mu nsi.

Kamalabyonna Mayiga abakubiriza okufaayo ennyo mu kutuukiriza ensonga ssemasonga ettaano nga kigenda kuyambako okuzimba Buganda ey’enkya.
Omusumba Omukulu ow’Ekkanisa eno, Musumba Godfrey yeebazizza nnyo Kabaka olw’enteekateeka ezizimbye Obwakabaka omuli okulima emmwanyi, okugaba sikaala n’okuzimba amasomero, okukulakulaanya eby’obulamu,
Akulembeddemu okubuulira, Omusumba Noah Ssekitto yeebaziza Obwakabaka olw’okubawa omukisa okukulemberamu enteekateeka y’okusabira Kabaka nga aweza emyaka 69 omwaka oguwedde.
Omusumba Ssekitto abuliridde abantu bonna okwefumitiriza omulamwa gw’emisinde ogugamba “abasajja tubere abasaale mu kulwanisa akawuka ka mukenenya tutaase omwana ow’obuwala” n’agamba nti waliwo abawala abesomye okunonya akawuka nga bayita mu kwetunda era abalabudde okukomya omuzze guno.

Oweek. Noah Kiyimba awerekeddwako Omwami wa Kabaka, George William Kasujja ow’Omuluka Najjanankumbi 1 mu ggombolola Mutuba VII.