Owek. Wamala alambudde Amasiro ga Ssekabaka Namugala, atendereza omulimu ogukoleddwa

Amawulire Apr 09, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kitala – Busiro

Minisita w’Ebyobuwangwa, Amasiro n’Olulimi mu Bwakabaka, Owek. Dr. Anthony Wamala asanyukidde omutindo ogukoleddwa mu nteekateeka y’okuddaabiriza Amasiro ga Ssekabaka Namugala e Kitala Muyomba mu ssaza lye Busiro

Owek. Wamala okusiima kuno akukoze alambula omulimu guno wegutuuse ku Lwokubiri nakakasa nti Amasiro gano gazimbiddwa mu ngeri y’omulembe kyagambye nti  kigenda kwagazisa abantu ba Buganda ennono yabwe.

Wamala asibiridde entanda Abalangira okunyweza obukulembeze bwabwe nga bwebugenda okuvaamu enkulakulaana ey’omuggundu mu bifo bya Buganda eby’ennono era kisikirize n’abazzukulu okudda ku butaka bwabwe okubikulaakulanya.

Ono yebaziza Omulangira Luwangula olw’okumukwatirako mu ntambuza y’emirimu gye mu minisitule nga akoze butaweera okutangira ekibbattaka ekiri ku ttaka ly’embiri n’amasiro nerisobola okukuumibwa.

Jjaaja w’Olulyo Olulangira, Omulangira Ssalongo Basajjansolo Luwangula akubiriza Abalangira obutabongoota nga ebifo by’ennono bitundiibwa n’abaana amagezi okukiika Embuga okweyongera okumanya ensonga ez’enjawulo ku Bwakabaka.

Kinajjukirwa nti Ssekabaka Namugala XXIV ye Kabaka eyasooka okutikirwa e Nagalabi Buddo era ennono eno bwetyo nejja nga ekuumibwa ku Bakabaka ab’enjawulo abazze balya Obuganda.

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek Anthony Wamala awerekeddwako Omulangira Luwangula Basajjansolo, Ssaabataasa Kasiko Musa, Abalangira n’Abambejja awamu n’abantu abalala.

LANGUAGE