Palamenti esiibuludde Abasiraamu, Owek. Kaawaase asanyukidde eky’ okusembeza Abantu

Agafa e Mengo Mar 15, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Kampala – Kyaddondo

Palamenti nga ekulembeddwamu Sipiika Annet Anita Among esiibuludde Abasiraamu akawungeezo ka leero era wano Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase agyebazizza olw’ okusembeza abantu awatali kusosola.

Owek. Kaawaase yeebazizza Palamenti wamu ne Sipiika Annet Anita Among olw’enteekateeka eno gye bakola buli mwaka ky’agambye nti kyongera  n’okunyweza obumu n’omukwano wakati w’ abakulembeze naabo bebakulembera.

Owek. Kigongo yeebazizza Sipiika Among olw’obweyamu bw’awadde okuwagira ebbago ku nnamula y’emisango mu mateeka g’obusiraamu (Shariah Law) n’ekkooti z’obusiraamu. Agamba kino kijja kwongera okunyweza ennamula y’abaddu ba Allah mu nkola eyabalambikibwa mu nzikiriza yaabwe.

Omukolo guno gwetabiddwako Minisita Mariam Mayanja Nkalubo, Ababaka ba Paalamenti, Bamasheikh n’abagenyi abalala abayitiddwa.

LANGUAGE