Bya Gerald Mulindwa
Buvuma
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza enteekateeka etuumiddwa “Situla Omutindo” ng’eno yeyubudde okuva mu kaweefube wa mmwanyi terimba.
Emyaka 10 emabega, Obwakabaka bwa Buganda bwatongoza kaweefube wa mmwanyi terimba n’ekigendererwa eky’okuzuukusa abantu ba Buganda okwerwanako, beekolerere balwanyise obwavu.
Ebbanga lino lyonna Katikkiro Mayiga alambudde amasaza ga Buganda okulaba abantu bwe bajjumbidde kaweefube ono, okubaluŋŋamya, okuwuliriza ebibasoomooza ne bye baganyuddwa nga kati mu kiseera kino kikkirizika nti ddala abantu bategetedde nti emmwanyi terimba era basobola okwekolerera okulwanyisa obwavu.
“Ekiseera kituuse kaweefube wa mmwanyi terimba agaziyizibwe agattibweko emiramwa emirala eginaayamba abantu okwongera okukyusa embeera zaabwe era enteekateka eno etuumiddwa “Situla Omutindo”, muno mulimu emiramwa mukaaga (6); Obulimi, Obusuubuzi, Ebyobulamu, Ebyenjigiriza, Embeera z’Amaka, n’Okusitula ebitone” Owek. Mayiga.

Mu nteekateeka eno Katikkiro ategeezezza nga bwe bagenda okwongera okulambula Obuganda balondoole emiramwa gino era asabye buli muntu wa Buganda abeeko omulamwa gwe yekwatako agukole n’obukugu era ku mutindo, olwo okwolesebwa kw’okuzza Buganda ku ntikko kwongere okunnyikira.
Enteekateeka eno Kamalabyonna agitongolezza mu maka ga Wasswa Silver ku kyalo Bukwaya ng’omulimi wa mmanyi n’emmere ey’okulya mu bizinga Buvuma.
E Buvuma eno, Katikkiro yasoose kulambula emirimu egy’enjawulo egikolebwa abantu b’okubizinga eno mwe yasisinkanidde abavubi ku mwalo e Kasaali B abaamulaze engeri gye bavubamu eby’ennyanja ebinene ne mukene, abasuubuzi b’ebyennyanja, n’abakola emirimu emirala.
Katikkiro wano akubirizza abavubi obutalagajjalira bulamu bwabwe batunuulire ebiseera eby’omumaaso ng’abalabula nti ebibalo biraga nti mukenenya akyeriisa nkuuli mu bizinga, bw’atyo n’abasaba okufuba okukendeeza ku okusasaana kwa mukenenya nga bakozesa obupiira, okwekebeza n’enkola endala ezirambikibwa abasawo.

“Abavubi bwe bafuna ensimbi okuva mu by’ennyanja bazitwala mu bamalaaya ate bangi tebaagala kwambala bupiira ekibaviiriddeko okukwatibwa mukenenya, buno buba bulagajjavu kubanga obupiira webuli obukozesebwa okwekuuma obulwadde buno, kale ssi kirungi ku mulembe guno Omutebi okulaba omuntu akwatibwa siriimu ng’atamanyi bw’akwata” Katikkiro Mayiga.
Dr. Steven Watiti, kamisona okuva mu Ugands Aids commission, agamba nti okutya okwekebeza kukoze kinene nnyo ku kusaasaana kwa mukenenya, bw’atyo n’akubiriza abavubi okwekebeza bamanye bwe bayimiridde.
Ye Minisita w’Obulimi Obulunzi Obuvubi n’Obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo, yatambudde ne Katikkiro, asabye abavubi okutandika ebibiina by’obwegassi basobole okufuna ensimbi ezinaabayamba okukola emirimu emirala omuli n’obulimi. Ategeeza nti olw’okuba okuvuba kukolebwa mu biseera ebigere, kirungi abavubi ne babaako emirimu emirala gye bakola nga okulima, okusubuula n’emirala.
Omwami w’Essaza Buvuma, Oweek Mbuubi Micheal Mboowa, ategeezezza Katikkiro nti abantu b’e Buvuma bafubye okwongera omutindo mu nnima y’emmwanyi omuli okukozesa ebyuma ebifukirira, n’ebisunsula emmwanyi, ono agamba nti bannabizinga bangi bafunye obwagazi mu kulima emmwanyi olw’ebibala bye balabyeko bannaabwe bye bafunyemu.
Owek. Noah Kiyimba asinzidde Majjo mu nnimiro ya Nassuuna Agnes, n’ategeeza nti kikulu nnyo okutambulira mu nteekateeka ya bajjajja abaatusooka abaakozesa obulimi okukuuma ettaka nga lya mugaso era ne yebaza Nassuuna olw’okutambulira mu buufu obwo n’asobola okuliikiriza ettaka nga akozesa ebyuma okufukirira.
Abalimi okuli; Nassuuna Agnes ne Wasswa Silive, basabye Obwakabaka okubateerawo ssemaduuka w’ebikozesebwa mu bulimi e Buvuma bawone okutindigga olugendo lw’e Kampala okunoonya eby’omutindo. Bano era bategeezezza nti basanyufu olwa kaweefube wa mmwanyi terimba kubanga baganyuddwa bya nsusso.

Omuntu bw’awulira ebizinga by’e Buvuma ayinza okulowooza nti bakoma ku kuvuba kyokka, ssi bwe kiri abantu ba Kabaka e Buvuma bajjumbidde okulima emmwanyi, emiti, balunda, basuubula n’emirimu emirala.