Okusoma kuzzeemu: Amasomero g’Obwakabaka gagguddewo okubangula abayizi
Ssingo
Olusoma lutandise na maanyi ku ssomero lya Ssaabasajja erya Mukwenda Nursery School mu ssaza Ssingo.
Olusoma oluggulawo omwaka lutandise mu butongole leero nga 10, Mukutulansanja 2026, amasomero g’Obwakabaka agatandikirwamu Beene ge yasiima gatandikibwe ku mbuga z’amasaza nago tegalutumiddwa mwana.
Essomero lya Ssaabasajja erya nassale mu Ssaza Ssingo erisangibwa mu ggombolola ya Mumyuka Bukomero, ly’erimu ku gagguddewo okuddamu okusomesa abaana b’ensi eno, era bazadde b’abaana babaweerezza mu budde, ate n’abasomesa batuuse dda mu bibiina.
Akulira essomero lino Nankya Christine, yeyanzizza nnyo Ssekkesa eyasiima essomero litekeebwe mu kitundu kyabwe, ng’agamba nti kino kiyitimusizza ebyenjigiriza mu kitundu kyabwe. Ono asabye abazadde okubongera abayizi basobole okubangulwa.
Omwaka guno wegutandikidde ng’Obwakabaka bugguddewo amasomero agatandirwamu abaana abato agawerera ddala 13 mu masaza ag’enjawulo.
Ensimbi Obukadde 133 Ze Zireeteddwa Abantu Ba Kabaka Mu Nkola Ya Luwalo LwaffeOct 20, 2026
Olukiiko lw’essaza Buweekula lubanguddwa ku nkubiriza y’olukiiko olugwa mu nteekateeka y’Obwakabaka entuufuOct 20, 2026
Nnaabagereka Akunze Abe Australia Okunyweza OlulimiOct 19, 2026



