
Bya Miiro Shafik
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akomyewo okuva ebweru w’Eggwanga gye yagenda nga 5 Ssebaaseka okulaba abasawo be.
Ku kisaawe Entebbe Omutanda ayaniriziddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo n’Abakungu abalala.
Owek. Kaawaase oluvannyuma ayogeddeko eri Bannamawulire era alaze essanyu olwa Nnyinimu okukomawo mu Nsi, ategeezeza nti abasawo be bamaze okumwekebejja ne bamukkiriza okudda ku butaka.
“Omuteregga akyali ku biragiro by’abasawo, era ng’Obwakabaka tujja kwongera okugoberera okuluŋŋamya kw’abasawo, kyokka Beene mw’ali mu Nsi ye alamula Obuganda” Owek. Kaawaase.
Prof. Kaawaase ategeezezza nti abasawo basanyukidde nnyo engeri Kabaka gy’agenze atereera era basuubiza nga bwe kibadde ne mu biseera ebiyise bajja kwongera okumulondoola n’eno gyali mu Nsi ye nga bayita mu basawo be abaakuno.
Nnyinimu akomyewo mu kiseera nga Obuganda buli mu bbugumu ly’okujaguza emyaka 32 bukya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atuuzibwa ku Nnamulondo ya Bajjajjaabe.