
Bya Miiro Shafik
Kampala – Kyaddondo
Omuteregga aweereza obubaka obukubagiza ab’enzikiriza ya Ismaili Imamat wamu n’aba Aga Khan Development Network (AKDN), obwetimiddwa Minisita Israel Kazibwe Kitooke abutuusizza eri Mw. Amin Mawji OBE Omukiise wa AKDN mu Uganda.
Mu bubaka bwe, Omuteregga asiimye Aga Khan IV olw’okutumbula enkulaakulana mu byenjigiriza, ebyobulamu n’embeera z’abantu mu Nsi yonna, era agamba nti omukululo ono gwe yaleka gwakujjukirwa ebbanga lyonna.
Omuteregga akulisizza Omulangira Rahim Al-Hussaini kati Aga Khan V olw’okufuna ekitiibwa n’obuvunanyizibwa era amusuubizza obuwagizi n’enkolagana ennungi n’Obwakabaka nga bwekibadde okumala ebbanga okuva ne mu biseera bya Ssekabaka Muteesa II.
Mw. Amin Mawji, omukiise wa Aga Khan Development Network mu Uganda yeyanzizza nnyo Maasomoogi olw’obubaka bw’abaweerezza era ono atenderezza emirimu egikolebwa Obwakabaka naddala mu kutumbula embeera z’abantu. Ono asuubiza okwongera okukolagana n’Obwakabaka ku nsonga nnyingi nga kaweefube wa mmwanyi terimba, ebyenjigiriza n’enkulaakulana endala.
Minisita Israel Kazibwe Kitooke bw’abadde atutte obubaka obwa Nnyinimu afunyemu obudde okwogera n’Omukiise wa Aga Khan Development Network mu Uganda n’amutegeeza ku nteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo era ne Mw. Amin ayogedde ku ngeri ez’enjawulo ze basuubira okwongera okugatta ku nkulaakulana y’Ensi nga bakwatagana n’obukulembeze obw’enjawulo.