
Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abakulu okuva Victoria Nursing and Midwifery Lira-city abakyadde ku Mbuga y’Obwakabaka Bulange okweyanjula n’okusaba okukolagana n’Obwakabaka.
Essomero li Victoria Nursing and Mid-wifery erisangibwa mu kibuga Lira ly’erimu ku masomero ekikumi kkumi (110) agamanyidwa minisitule y’ebyenjigiriza nga lino liraze okuyayanira enkolagana n’Obwakabaka okuweebwa omukisa litendeke abantu ba Ssaabasajja amasomo g’obusawo n’okuzaalisa.
Katikkiro Mayiga asinzidde mu nsisinkano eno n’alaga nti waliwo obwetaavu bw’okwongera ku bungi bw’abasawo abagaba obujjanjabi obusookerwako mu malwaliro nga bannansi n’abazaalisa abalina obukugu obwetaagisa.
“Tukyetaaga abasawo naddala bano abagaba obujjanjabi obusookerwako nga bannansi n’abazaalisa abalina obukugu obwetaagisa ate ffenna nga bwetumanyi nti obulamu ky’ekirabo ekisinga kye twebaliza Katonda naye obulamu obwo okubeera nabwo tugambe omuntu okuwangaala n’akola emirimu gye ateekwa okuba ng’abasawo be yebuuzaako ku bulamu bwe bye bakola babitegera era nga batendeke” Katikkiro Mayiga bw’anyonnyodde.
Kamalabyonna alaze obwenyamivu olw’omuwendo gw’amasomero agatendeka abasawo okuba wansi ng’agamba nti abantu abasinga abasiga ssente mu byenjigiriza bakola masomero ga pulayimale ne siniya kyokka nga obwetaavu bungi ddala mu bakugu mu byobulamu naddala mu malwaliro agasookerwako ng’agambye nti omuwendo gw’abasawo mutono bw’ogugeraageranya n’abalwadde be bakolako ate nga n’abamu tebatendekeddwa kimala.
Oweek Mayiga awadde abakulu okuva ttendekero lino essuubi nti Obwakabaka bwetegefu okukolagana nabo era abasabye bagoberere emitendera egititibwamu abaagala emikago n’Obwakabaka era abasabye baweeyo ebiwandiiko eri ebitongole Minisitule y’Ebyenjigiriza mu Buganda, biyitibwemu ekitongole ekikwanaganya Bannamikago, ekitongole ky’ebyamateeka mu Bwakabaka kye binaava bitunulwemu Kabineeti ya Kabaka, olwo bwe bisembwa omukago guteekebweko omukono.

Minisita wa bavubuka Robert Serwanga Ssaalongo ku lwa Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu mu Buganda agamaba nti bajjidde mu kiseera nga ekisaawe ky’ebyobulamu kirina okusoomoozebwa okw’enjawulo naddala ku mutindo gwa basawo ogufulumizibwa.Bano abajjukiza nti Ssaabasajja azze akola ensiisira z’ebyobulamu nga ekigendererwa kya kutuusa bujjanjjabi ku bantu be naye kino kiyinza kutuukirira nga waliwo abasawo ab’omutindo. Bwatyo n’abakubiriza okufaayo ennyo ku mutindo gwe bawa abaana.
Ye Dr. Isaac Oriec Orec omukulu w’essomero li Victoria School of Nursing and Mid-wifery Lira nga ensonga gy’ayanjudde embuga ebadde ya kusaba nkolagana n’Obwakabaka naddala mu nsonda z’okubangula abasawo abanaaweereza mu ggwanga nga ebiruubirirwa by’anokodeyo essomero byeririna kwe kuwa ebyenjigiriza eby’omutindo eri abayizi ate ku bbeeyi esoboka, okufulumya abayizi abamaze amasomo mu by’obusawo nga balina okumanya okulungi ennyo mu by’obujjanjabi naddala ku nkozesa eya tekinologiya mu kujjanjaba nga ebyo byonna babyesigamya ku mukwano, obukugu ate n’okugoberera amateeka.
Dr. Oriec alaze nti beteefuteefu okuwa abayizi kumi basale okuva mu Bwakabaka buli mwaka mu masomo g’obusawo n’okuzaalisa nga abayizi bano banaalondebwanga minisitule y’ebyenjigiriza mu Bwakabaka.